21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
Amawulire

Nnawummula CG Kiwanuka Musisi

E BUIKWE

Munnabyabufuzi omukukuutivu, omukulembeze era omusomesa omutendeke  ku ddaala lya diguli B\E  okuva  ku ssettendekero e Makerere , Christoper Godfrey  Kiwanuka  Musisi, musajja omutima gwa Disitulikiti ya Mukono  kwe gwakubiranga nga tennakutulibwako ey’e  Kayunga,  Buvuma, ne  Buikwe. Yabaaki?  Oluvannyuma lw’okumunoonya ennyo omusasi wa ffe Sulaiman Tenywa yamusisinkanye mu makaage ku mutala Bukaya, mu munisipaali ya Njeru, mu Disitulikiti kati eya Buikwe.  Emboozi yagenze bweti;

SSEKANOLYA: Nga tokyawulikika mu nsiike y’obukulembeze n’ebyobufuzi?

CGKM: Nnawummula naye buvunaanyizibwa bwabo abadda mu bigere byange okunnoonya. Sikoodowalira magezi.  Kiri eri muntu okugula ekirowoozokyo oba obutakigula.

SSEKANOLYA: Mu kulayira ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu mwaka 1986 Pulezidenti Museveni yasuubiza okuleetawo enkyukakyuka y’ OMUGGUNDU. Nkyukakyuka yangeriki gy’olaba?

CGKM: Enkyukakyuka weeri. Pulezidenti Museveni ye yaleeta enkola ya disentulolayizesoni abantu okwelondera abakulembeze okuviira ddala ku kyalo okutuuka ku ddaala lya disitulikiti.  Eddembe ly’abantu okwelondera abakulembeze teryaliwo. Nkyukakyuka y’amaanyi eyo. Ku mirembe egyayita, gavumenti ya wakati yeyawandiikanga abakulembeze mu zi disitulikiti.

SSEKANOLYA: Wasoma busomesa, Kiki ekyakuyingiza eby’obufuzi n’obukulembeze?

CGKM: Mu mwaka gwa 1978 omulimu gw’okusomesa gwali guweddemu ensa. Wano wenneegattira ku kibiina kya Democratic Party (DP). Mu mwaka 1980 nze nnali omuwanika w’ekiwayi kyabavubuka mu DP. Wakati womwaka 1980-1985, nnali mubaka wa Palamenti owa Konsituwensi ya Mukono South. Tito Okello Lutwa bweyajjulula Palamenti mu mwezi gwa July 1985, nnaweebwa omulimu gwa kitunzi (marketing executive) mu NYTIL era ne ngukola okuva mu 1986 okutuuka mu 1992. Abawagizi bange mu Buikwe, Najja ne mu Ttawuni Kanso y’e Kiyindi beebampa amagei okuyingira NRM. Nakomawo mu Palamenti mu kukola Ssemateeka w “eggwanga lino (1993-1995) ku mulundi ogwo nga nkiikirira konsituwensi ya Buikwe South.

SSEKANOLYA:  Bizibuki gavumenti z’ebitundu (LGs) byezirina?

CGKM: Ebizibu bya gavumenti z’ebitundu okubitegeera obulungi bitandikira ku kubeera nti omusolo gw’omutwe gwajjibwawo era gavumenti z’ebitundu ziyimirirawo okusinga ku ssente eziva mu gavumenti ya wakati (Central Government). Ekirala, y’entendeka ya bakulembeze ne bakkansala ey’ekiyita mu luggya. Kya buvunaanyizibwa nnyo okutendeka abakulembeze, Era nze ssiri musanyufu olw’engeri obukiiko bwa District Service Commission gyebukendeezeddwa obuyinza

SSEKANOLYA: Bubaka ki bwolina eri ba ssentebe ba gavumenti zebitundu?

CGKM: Bafube nnyo okutegeera emigaso egiri mu kubeera n’enkiiko ezigatta gavumenti z’ebitundu. Nze nnatandikawo Uganda Local Authorities Association (ULAA) era n’enkulembera ebisanja bibiri. Kyetaagisa okwekenneenya n’emigaso gya Urban Authorites. 

Related posts

Ebibuzo byabagalana ne ssenga

OUR REPORTER

Eyayiwa obusa mu maka ga Pulezidenti afiiridde mu kkomera.

OUR REPORTER

Abagambibwa okubba bodaboda basindikiddwa e Luzira.

OUR REPORTER

Leave a Comment