9.9 C
Los Angeles
March 29, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Nobert Mao asisinkanye maama wa Ssegiriinya.

Maama wa Muhammad Ssegiriinya, Justine Ssanyu Nakajumba yasisinkanye Minisita w’ensonga z’amateeka n’ekitongole ekiramuzi, Nobert Mao namusaba atunule  munsonga za mutabani we asobole okuweebwa eddembe lye.

Ensisinkano eno yabadde mu woofiisi ya Mao esangibwa ku Minsitule  y’obwenkanya n’ekitongole ekiramuzi wano mu Kampala.

“ Nsisinkanye  maama wa Ssegiriinya era twegattiddwako ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu, Mariam Wangadya abadde ankyalidde.  Musuubizza  ensonga ze okuwulirwa mu mazima n’obwenkanya,” Mao bweyategeezezza nga ayogera ku nsisinkano eno.

Okusinziira ku Mao kyasobola okukola kati kwekulaba nti emisango gy’ababaka bano giwulirwa mu bwangu era mu bwenkanya.

Nakajumba yagezezaako okuyingira mu woofiisi ya Mao wabula nalemesebwa ab’ebyokwerinda olw’okuba Mao yabadde mu lukiiko lwa Kabineeti e Ntebe.

Ababaka bano Ssegiriinya ne Ssewanyana bakwatibwa  omwaka mulamba n’ekitundu emabega ku bigambibwa nti bamanyi ku ttemu ly’ebijambiya eryali mu kitundu ky’e Masaka omwaka oguwedde.

Related posts

Abakalamoja balumiliza abasirikale ba LDU okwenyigira mububi bw’ente nga bakozesa e Mundu.

OUR REPORTER

Owek. Mayiga asisinkanye abakyala abawandiika ebitabo.

OUR REPORTER

Ebiri mu lipooti ku ndagaano ye mwanyi – Ababaka basazeewo endagaano y’e mwanyi esazibwemu

OUR REPORTER

Leave a Comment