Ssenkagale w’ekibiina kya Dp mu Uganda Hon. Norbert Mao Atadde omukono ku ndagaano y’okukolagana obulungi n’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM nga takakiddwa.
Endagaano eno bagitaddeko omukono mu maka g’Obwapulezidenti era Mueveni yeebazizza nnyo Mao olw’okusalawo kw’akoze.

“Bulijjo mbagamba DP etaliimu Musevni eyo tebeera DP kubanga nnali mpagi luwaga mu kibiina kya DP:” bwatyo Pulezidenti Museveni bwategeezezza oluvannyuma lw’okussa omukono ku ndagaano