23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Nze sitiisatiisangako Lukwago –Kyofatogabye.

MINISITA omubeezi owa Kampala ,Kabuye Kyofatogabye akakasizza nga bwe yasindikira Loodi meeya wa Kampala obubaka ku ssimu kyokka ono agamba ng’amusaba alekeraawo okuyisa mu bantu amaaso.

Loodi meeya Erias Lukwago bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku nguudo aka physical infrastructure ategeezezza nga bwe yafuna obubaka obumutiisatiisa okuva ewa minisita n’ategeeza nti singa ekintu kyonna kimutuukako basaanidde okumanya  ensonga gyeziva.

Kabuye Kyofatogabye ategeezezza nti obubaka bwe yamusindikira bw’ava ku nsonga ey’okussaawo akakiiko akavunaanyizibwa ku nguudo mu Kampala ,Lukwago yali ayagala buli kintu kiyimirizibwe era agamba nti obubaka bwe yamuweereza yali amusaba okukomya okuyisaamu abantu amaaso.

Kyofatogabye era agamba nti ensonga ey’okukola enguudo bagikutte n’amaanyi n’agamba teyeewuunya nga loodi meeya atandise kugamba nti yatiisiddwatiisiddwa.

Kyofatogabye mu ngeri yeemu ategeezezza nti Loodi meeya asaanye okubeera ekyo kulabiraako eri eggwanga nga yakulemberamu okulaga essanyu olw’ensimbi ezibeera zimuweereddwa okugendako wabweru w’eggwanga.

Related posts

Engoye eziyisa empewo nzettanira

vega

Owabooda atomeddwa mmotoka n’atwalibwa mu ddwaaliro ng’ataawa.

OUR REPORTER

Makerer  esabwe gavumenti  ebugere ku  ssente z’okunoonyereza .

OUR REPORTER

Leave a Comment