Mu maaso g’omulamuzi Henry Kaweesa Isabirye, omujulizi asoose mu kaguli ye musawo wa gavumenti Onen Geofrey eyakola ku kunoonyereza ku ndaga butonde ezaali ku bizibiti eby’enjawulo ebyamuweebwa poliisi okubaako obukakafu bw’azuula era ng’ekimu ku bizibiti ye jjambiya empya eyasing’aanibwa mu kisulo (Hostel) gye yali asula.
Ekisinga okwewuunyisa ejjambiya eno ebadde yawagalwa obulungi teyasing’aanibwako ndagabutonde bwa musaayi gwa mugenzi newankubadde ogwa Kirabo kyokka nga ku kamu ku buwale obw’omunda ak’omugenzi, kano kaasingaanibwako ndagabutonde y’omugenzi Desire Mirembe n’eya Kirabo.
Musawo Onen era annyonnyodde kkooti nti ku bizibiti 25 ebyamuweebwa, yazuula ng’ebisinga ku byo byasing’aanibwako omusaayi gw’omugenzi gwokka era ng’ogwa Kirabo tegwaliko, ekintu ekiwuniikirizza kkooti.
Mu bimu ku bizibiti ebireeteddwa era okwasing’aanibwa endaga butonde y’omugenzi kwe kuli akawale k’omugenzi ak’omunda ak’okubiri, sikaati gye yali ayambadde, bbulawuzi n’akakooti era nga bino byonna tekwasing’aanibwaako ndagabutonde za Kirabo.
Onen era annyonnyodde omulamuzi nti mu kifo awasangibwa omulambo gw’omugenzi Mirembe waaliwo musaayi kyokka nga tewaali musaayi yadde endagabutonde ekwatagana n’eya Kirabo avunaanibwa ekintu ekyatabudde ennyo aba ffamire y’omugenzi era omulamuzi n’ayimirira kooti okumala ebbanga.
Omu ku ba puliida abawolereza Kirabo Evans Achieng ajunguludde obujulizi obuleeteddwa Onen n’ategeeza nti ebizibiti byonna bye yakolako okunoonyereza bwe biba nga tekwasing’aanibwako ndagabutonde ya Kirabo,ekyo kiragira ddala nga bw’ataali mu kkobaane lya kutta mugenzi Mirembe.
Kitaawe w’omugenzi Emanuel Musoke ategeezezza nga Kirabo bwe yakozesa obukugu obw’amaanyi ennyo okutta muwala we okutuuka ku ssa ery’ebizibiti ebisinga obungi okuba nga tekwali musaayi gwe kyokka ng’ekibazizzaamu essubi, ye ndaga butonde ya Kirabo eyasing’aanibwa ku kawale ka muwala we ekiraga nti ddala yali mu kkobaane ery’okumutta.
Omulamuzi yalagidde kooti okuddamu okituula nga 11/01/2022 okwongera okufuna obujulizi okuva mu ludda oluwaabi