Okulondebwa kw’omubaka we Masaka Nyendo- Mukungwe mu palamenti Mathias Mpuuga okukulira ab’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti eye 11 kukya LoP kwakoleddwa Ssabawandiisi w’ekibiina kya NationalUnity Platform David Lewis Rubongoya era ono yazze mubigere by’omubaka omukyaala akikirira disitulikiti ye Gulu mu palamenti Betty Aol Ochan okuva mu kibiina kya FDC.
Nga yakalangilirwa Mpuuga yeyamye nga bwagenda okufuba okulaba ng’agatta ababaka bonna abali kuludda oluvuganya gavumenti era n’okulaba nga bakolera wamu ng’ekitole okusobola okusigukulula pulezidenti Museveni mu Ntebe ya Bobi Wine gye yewangamyemu. Yasuubizza nga bwagenda okulwanirira bannabyabufuzi abazze bakwatibwa ne baggalirwa mu makomera naddala e Kitalya olw’okuwagira pulezidenti wabwe Kyagulanyi.
Okusinzira kunsonda ezesigika eokuva munkambi ya NUP e Kamwokya, zategezezza SSEKANOLYA nti omubaka Mpuga obutafananako babaka abalala abava mu DP, ono abadde muwulize nnyo eri Principle, era olumu abaddenga atera n’okumufukamirira ng’aliko ensonga enkulu zayagala okumutegeeza, obugonvu buno, buyinza okuba nga bwe bwaviriddeko Bobi Wine okumwesiga n’amukwasa mu kintu ng’akulira banne.
Abalala bategezezza nti Mpuuga amaze emyaaka 15 mu palamenti, alina obumanyirivu obumala era ajja kusobola okukumakuma babaka banne abakyaali abapya mu palamenti. Ensonda era zategezezza nti omubaka Mpuuga alina obukugu ku nsonga za palamenti era nti NUP esubira agya kutukkirizza bulungi obuvunanyizibwa bw’e kifo kino y’e nsonga lwaki awangudde banne webabadde ennyo kumbirinye okuli omubaka wa Busiro East Medard Lubega Ssegona ,John Baptist Nambeshe, omubaka omukyaala owa Kasanda Kalule Namagabe n’omubaka wa monicipaali ye mukono eyasooka okwegwanyiza ekifo kino kyokka oluvannyuma n’akiddukako nga kati yegwanyiza kya mubaka akulira ababaka mu Buganda.
Omubaka Mpuuga nga tanesogga bya bufuzi, yaliko minista mu gavumenti ya Kabaka e Mmengo, olw’obuwereza obulungi, eyinza okuba ensonga lwaki omubanda wa Kabaka yamulonze okusobola okukumakuma abantu ba Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.
Mu biseera bya ‘’Struggle’’ Mpuuga abaddewo nnyo ku nsonga z’e kibiina nga n’olumu amagye bwe gasalako Mr. Principle ne gamusibira mu maka ge e Magere,Mpuuga y’omu kubabaka abamuyiirawo ennyo omubiri, nayo yandiba emu kunsonga eyatunuddwamu nti asobola okuyimirira mubuli nsonga.
Mubalala abalondedwa kuliko omubaka wa Manjiya County era nga y’amyuuka sentebe wa NUP e buvanjuba, ono kati ye Nampla w’oluda oluvuganya mu palamenti, Manjeri Kyebatika amyuka Nampala w’oludda oluvuganya gavumenti, Joel Ssenyonyi mubaka wa Nakawa East yalondeddwa okukulira akakiiko ka COSACE,amyuukibwe Lucy Amuru , Francis Zaake yalondeddwa nga komisona wa palamenti,Medard Ssegona yakulira akakiiko ka PAC,n’amyuukibwa Asuman Basalirwa, Ojara Martin yakulira gavumenti ezebitundu n’amyukibwa Luttamaguzi Ssemakula, Joseph Ssewungu yalondoola ebisuubizo gavumenti byekola.