OBUNKENKE bweyongedde okuva mu bazadde olw’ebbula ly’amazzi mu Masaka nga kino kiyinza n’okuviirako bassedduvutto okweyambisa omukisa okutunuza abaana b’obuwala mu mbuga za sitaani.
Hafiswah Nakasenge omutuuze mu kibuga Masaka yategeezezza SSEKANOLYA nti abaana baabwe bali mu muggalo ewaka olwa ssenyiga lumiima mawuggwe eyazingako eggwanga era nti w’osomera eggulire lino bali mu kusattira okutagambika olw’ebbula ly’amazzi eriri mu kitundu nga kati kumpi abaana ab’obuwala batya okubasindika ku nzizi ez’emidumu olw’abasajja bakaggwensonyi abayinza okozesa omukisa guno okubasobyako.
Nakasenge ayongeddeko n’akkaatiriza nti ng’oggyeko bassedduvutto okubatunuza mu mbuga za sitaani ate bayinza n’okufunayo ekirwadde kya corona kubanga abantu bangi abakunganira ku nzizi ez’emidumo oba ku piyipu y’amazzi yonna ebeera eyabise nga kiteeka obulamu bwabwe mu matigga n’asaba abo bonna be kikwatako okulaba nga bakola ekisoboka okuzzaako amazzi.
Ebimu ku bitundu ebikyasinze okukosebwa olw’ebbula ly’amazzi kuliko Nyendo, Kijjabwemi, Kigamba n’ebitundu ebirinaanyewo.
Abatuuze bagamba nti abazadde abamu olw’okutya bakaggwensonyi abayinza okubasobyako kati bapangisa abavuzi ba bodaboda ne babasombera amazzi naye nga kati ekidomola bakireetera wakati wa lukumi n’olukumi mu ebitaano okusinziira n’obuwanvu bw’omuntu gy’abeera ne webagakima.
Wabula abakozi mu kitongole ky’amazzi e Masaka baategeezezza SSEKANOLYA nti bannanyendo ne Kijjabwemi nti ekizibu kiri ku bakozi b’oluguudo lwa Nyendo Kijjabwemi oluva ku Welcome oluli mu kukolebwa ng’ebimotoka bitema payipu ezitambuza amazzi ng’obuzibu we buva. Baayongeddeko ne basaba bannamasaka okubeera abakakkamu kubanga nabo bakola ekisoboka kyonna okulaba nga buli kimu kitereera kubanga kibadde tekibatukangako