Abasuubuzi abakolera e Nimule mu South Sudan batadde wansi ebikola nga bemulugunya ku bulumbaganyi obuzze bubakolebwako nga batambuza ebintu okubiyingiza e South Suda obuviriddeko banabwe okufiiramu abalala nebabuka n’ebisago.
Wiliam Busuulwa ssentebe wa baddereva abakolera e Juba agambye nti basazeewo okuyimiriza okukola emirimu kubanga ettemu eribakolebwako lisukiridde mu wiiiki bbiri bakafiirwa banabwe abasoba mu 7 nga bano okutibwa abatujju babatega ku lugudo lwe Nimule ne Legu nebabakuba amasasi gabatiddewo mu mmotoka zabwe zebabaddemu ekireseewo obunkenke n’okusattira kwekusalawo okuyimirizzza emirimu gyabwe gyonna okutuuka nga embeera eteredde,.
Abamu ku abatiddwa kuliko Harunah Abdullah , eyabade avuga trailor nnamba KCF 351M L ne munne gweyabadde naye atategerekese mannya nga bano okusinga babadde banansi ba Kenya nga ku mulundi guno banna Uganda basimatuse wabuka batulugunyiziddwa nnyo kubanga abamu bakubiddwa emiggo banyiga biwundu.
Busulwa agambye nti olw’obunkenke buno babadde tebakyasobola ku kola mulimu gwonna okugyako okuyimiriza emirimu okutusa nga gavumenti ha Uganda ekwasaganye neginaayo eya South Sudan okumalawo obuzibu buno kubanga batibwa mu mbeera gyebatategeera
Baddereva bagambye nti tebagenda kuddamu kusabaza bayamaguzi bataddewo akeediimo okutuusa nga waliwo ekikoleddwa bakooye okutibwa nga ebiwuka okutuusa .
