Minisita w’essiga eddamuzi n’amateeka Norbert Mao wamu ne Ssaabawolereza Kiryowa Kiwanuka batuuzizza Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo ne Ssaabaminisita Robinah Nabbanja mu kafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire okugonjoola ku butakkaanya bwebaali bafunye ku ntamubuza y’emirimu.
Kino kiddiridde Ssaabaminisita Nabbanja okulumba omulamuzi wa kkooti esookerwako e Mengo namukunya ku ngeri gyeyali asindise omukazi Gertrude Nalule mu nkomyo olw’ ebbanja lya bukadde 2.8 lyeyafuna nga asinze ekibanja kye namulesaawo abaana be, Nabbanja kyeyagamba nti tekyali kya buntu.
Bano basisinkanye ku Lwakusatu ku kkooti enkulu nga ensisinkano eno ebadde ekubirizibwa Ssaabawolereza Kiryowa Kiwanuka era nga minisita Norbert Mao naye agibaddemu.
Oluvannyuma lwa bino, Ssaabalamuzi yavaayo nawa Nabbanja omutima ogulumirirwa agumalire mu bintu ebirala nga amalwaliro omutali ddagala naye yesonyiwe okuyingirira kkooti kuba enkola yaazo ey’emirimu erungamizibwa Ssemateeka so si ndowooza za bantu.
Oluvannyuma lw’ensisinkano eno, Ssaabaminisita ne Ssaabalamuzi bategeezezza bannamawulire nga bwebakkiriziganyiza okukolera awamu okusobola okugasa bannayuganda.
Kinajjukiurwa nti Nabbanja si yasoose okulumba abalambuzi ku ngeri gyebakolamu emirimu gyabwe, gyebuvuddeko Pulezidenti Yoweri Museveni yavaayo natabukira abalamuzi okuwa ensala mu ngeri egasa abantu ab’olubatu nereka abangi okubonaabona.