Obwakabaka bwa Buganda bubikidde Obuganda okufa kw’Omuzira Angelina Nabakooba eyakweka Ssekabaka Edward Muteesa Luwangula e Mawogola ku basajja ba Kawenkene Apollo Milton Obote bweyalumba Olubiri mu 1966.
Bw’abadde abikira Obuganda ne bannamawulire abakung’aanidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna, Minisita w’ebyamawulire Noah Kiyimba agambye nti Obuganda bufiiriddwa omuzira Namige.
Owek. Kiyimba annyonnyodde nti Buganda etaddewo akakiiko k’abantu 5 balamba nga bakuyambibwako famire okuteekateeka amaziika ga Angelina Nabakooza.
Akakiiko kano kakulemberwa Owek. David Kiwalabye Male, Amb. William SK Matovu, Omwami w’essaza Mawogola, Muhammad Sserwadda, Ppookino Jude Muleke n’Omwami Joseph Mugagga.
Kinajjukirwa nti ng’ennaku z’omwezi June 23, 1966, Nabakooza nga ali wamu ne Kitayimbwa Mumiransanafu bakukusa Ssekabaka Muteesa nebamuyingiza Rwanda era bwatyo neyeyongerayo e Goma ne ne Bukwaku mu Zairu gyeyava nagguka e Bujumbura mu Burundi n’oluvannyuma natuuka e Bungereza gyeyawang’angukira nga ayambibwako omukulembeze wa Burundi ow’ennono Mwami Ntare.
Gyolyabalamu mu 2009, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima abantu ab’enjawulo abayimirira ne Buganda mu 1966 awamu naabo abalabirira Ssekabaka Edward Muteesa ng’ali mu buwanguse era omukolo gwali Nsambya mu ggombolola ye Lugusuulu mu Mawogola.
Nabakooza yali omu ku bano era naweebwa ekitiibwa ekisinga mu Bwakabaka ekya Amafumu n’Engabo era Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka namuwa ennyumba ng’ ekirabo.
Abalala abasiimibwa kuliko Omulangira Kitayimbwa Kabumbuli Mumiransanafu, Kabajjo, ne Dan Kaamanyi.