14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Obwakabaka buwadde abaami b’amagombolola pikipiki okwongera amaanyi mu kulwanyisa mukenenya.

Pikipiki zino zaaguliddwa ku nsimbi ezaava mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno, nga zaakuyamba abaami okutuusa obubaka obulwanyisa mukenenya ku muntu asembayo ku kyalo.

Basoose n’amagombolola 71, era Katikkiro, Oweek. Charles Peter Mayiga, yaazibakwasirizza ku  Bulange, olwa leero.

Abatuutidde okutalaaga buli katundu mu bitundu bye batwala, okulaba nga olutalo ku mukenenya luwangulwa omwaka 2030, we gunaatuukira.

Katikkiro yeebazizza abantu bonna abeetaba mu misinde gy’omwaka guno, n’abakubiriza okwongera okwekuuma, ate n’okugoberera ebiragiro by’abasowo, bataase obulamu.

Related posts

BA PASITA ABAWASA NGA BWE BAGOBA

OUR REPORTER

Kyagulanyi  azzeemu  okubanja abawagizi ba NUP .

OUR REPORTER

Obwakabaka  bwa Buganda bulabuddeHamis Kiggundu ne kkampuni ye eya Kiham Enterprises.

OUR REPORTER

Leave a Comment