14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
Amawulire

Obwakabaka  bwa Buganda bulabuddeHamis Kiggundu ne kkampuni ye eya Kiham Enterprises.

Obwakabaka bwa Buganda bulabudde omugagga Hamis Kiggundu ne kkampuni ye eya Kiham Enterprises okukomya okwonoona erinnya ly’ abaweereza b’Omutanda wakati nga agezaako okutwala ettaka lya Kabaka mu mankwetu.

Okulabula kuno kukoleddwa omwogezi w’Obwakabaka era Minisita w’ebyamawulire Owek. Noah Kiyimba mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Mmande.

“Teri kijja kuggya Bwakabaka ku mulamwa gw’okulwanirira okusazaamu ebyapa ebikyamu era okuvuma, okujolonga n’okutiisatiisa ebikoleddwa n’okusuubira okukolebwa ku baweereza b’Obwakabaka tebigenda kutuseeseetula wadde yinki emu bweti,” Minisita Kiyimba bwe yagambye.

Kino kiddiridde omugagga Hamis Kiggundu okulabikira mu katambi nga alumba abakozi b’ekitongole kya Buganda Land Board ku biri ku ttaka lya Buganda eririraanye amayumba ga Mirembe Villas nga lino Kiggundu alemeddeko okulyezza nga agamba nti lirye era lyamuweebwa ab’ akakiiko k’ebyettaka e Wakiso wadde nabo bamwewakana.

Owek. Kiyimba yannyonnyodde nti kye baagala ge mazima okuvaayo era bataase ettaka ly’Obwakabaka era nsaba Ham okuvaayo alage ensi engeri gyeyafunamu ekyapa mu nnyanja nga bwe yategeezezza.

“Twewuunya nnyo engeri ebitongole ebikwanaganya ensonga z’obutonde naddala NEMA gyebikkiriza munnaffe okufuna ebyapa mu ntobazi eziggwa mu ‘Mailo ya Kabaka’. Obwakabaka era bwewunya engeri omuntu gy’ayinza okufuna yiika ezisoba mu 140 ku mitwalo 10,” Minisita Kiyimba bwe yalambuluddde.

Kinajjukirwa nti gyebuvuddeko, Omugagga Ham yategeeza nga bweyali aggye enta mu nsonga z’ ettaka lino nga agamba nti tasobola kuvvoola kitibwa kya Kabaka we kyokka ate neyekyuusa naddamu okulumba abaweereza b’Omutanda ku nsonga  ezikwatagana n’ettaka lino.

Related posts

Ssaabasajja asiimye obuweereza bwa Dr.Paul Ssemogerere.

OUR REPORTER

Engeri obubinja bwa babbi gyebutadde oluguudo lwa Northern By pass ne Kampala ku bunkenke.

OUR REPORTER

Poliisi ekutte omuvubi afumise munne lwa mukene.

OUR REPORTER

Leave a Comment