24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeaturedTech

Obwakabaka bwatongozezza Bboodi y’Empuliziganya ne Tekinologiya.

Obwakabaka bwatongozezza Bboodi y’Ebyempuliziganya, Tekinologiiya n’Obuyiiya okusobola okutumbula enkulaakulana mu Buganda kisobozese okuggya abantu  ba Kabaka mu bwavu.

Bweyabadde atongoza olukiiko luno mu bimuli bya Bulange, ku Lwokuna Katikkiro Charles Peter Mayiga yabakuutiddde okukola buli kimu okukyuusa endowooza y’abantu ba Buganda era babagazise Tekinologoya n’okubeera abayiiya okusobola okuzza Buganda ku ntikko.

Bboodi ekulemberwa Muky. Paula Musiitwa, naamyukibwa Mw. Joseph Kiggundu.  Bammemba abalala ku Lukiiko luno kuliko; Mw. Abdul M. Kibuuka, Lydia Nakju Bakyusa, Dr. Sulaiman Kawooya, Ssekadde Saul,  Vincent Male awamu ne  Nagawa Teddy Lukwago.

Kamalabyonna era yasabye akakiiko kabangewo enkola ey’okwagazisa abantu tekinologiiya kubanga y’enkola yokka egenda okubayamba okwekulaakulanya.

Owek. Mayiga yannyonnyodde nti ensi nebwebeera n’obugagga obungi naye nga abantu baayo tebasobodde kwettanira Tekinologoya, Obugagga tebugigasa naawa eky’okulabirako kya DR. Congo esangibwamu kumpi buli kya bugagga naye abantu baayo balunkupe.

Omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita w’Obuyiiya n’Enzirukanya y’Emirimu, Owek Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, yasabye abakiise ku lukiiko olutongozeddwa okukozesa obukugu bwe balina okumanyisa abantu ba Ssaabasajja Kabaka ebikwata ku Buganda nga bakozesa tekinologiya.

Ate Ssentebe wa Bboodi eno, Omuk. Paula Musiitwa, yagambye nti kaweefube ono wakuyambako okutumbula eby’obuyiiya, eby’obulimi bya Buganda ne uganda wamu n’okugaziya akatale kaabyo wa bweru w’eggwanga.

Omuk. Musiitwa kulwa banne, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okubalondobayo n’abawa obuvunaanyizibwa buno bwatyo ne yeeyama okukwatira awamu n’abakulembeze b’Obwakabaka okutuukiriza ebigendererwa by’Obwakabaka.

Related posts

Leero amatikkira ga Makerere University  wegatandise .

OUR REPORTER

Obunkenke ku kkooti nga Munyagwa ayimbulwa.

OUR REPORTER

KITALO! Dr. Paul Ssemogerere afudde

OUR REPORTER

Leave a Comment