23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Ofiisa wa poliisi eyali yadduka akomyewo ne yeewaayo mu mikono gya poliisi.

OFIISA wa poliisi, ACP Siraje Bakaleke eyali yaddukira ebweru w’eggwanga gy’amaze akabanga akomyewo ne yeewaayo mu mikono gya poliisi.

Bambega ba poliisi ku kitebe e Kibuli baamukunyizza okumala ebbanga oluvannyuma ne bamuyimbula ku kakalu ka poliisi.

Gibadde giweze emyaka mukaaga okuva Bakaleke eyali aduumira poliisi mu bitundu bya Kampala South lwe yadduka mu ggwanga okwetegula bakama abe abaali bamuyisizzaako ekiragiro akwatibwe wonna we bamusanga.

Kigambibwa nti Bakaleke n’abaserikale ba poliisi abalala mukaaga okuli; Robert Munezero, Innocent Nuwagaba, Robert Ray Asiimwe, Junior Amanya, Gastavas Babu ne Kenneth Zirintusa, nga beeyambisa ofiisi zaabwe baakwata munnansi wa Korea, Jang Seungkwon mu bukyamu n’ekigendererwa eky’okumunyaga wakati wa February 4 ne 11, 2018.

Nga April 29, 2018, omwogezi wa poliisi Fred Enanga yafulumya ekiwandiiko okwali n’akafaananyi ka Bakaleke ng’alaga nti yali yeetaagibwa kkooti ewozesa abakenuzi ku misango gy’okukozesa obubi ofiisi ye n’akwata Jang n’amuggalira.

Yaggulwako omusango ku ffayiro ya kkooti 0095/2018 ssaako ffayiro endala mu poliisi y’oku kisaawe ky’ennyonyi AVIPOL CRB 047/2018.

Enanga yagambye nti Bakaleke yeekomezzaawo yekka ne yeeyanjula ku kitebe kya poliisi e Naggulu bakama be ne bamulagira agende ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli.

“Yagenze e Kibuli ku Mmande ya wiiki ewedde abaserikale ne bamuggyako sitetimenti n’oluvannyuma ne bamuyimbula ku kakalu ka poliisi.” Enanga bwe yagambye.

Related posts

Eby’okusalako amazzi mu malwaliro ga gavumenti Nabbanja abiyingiddemu.

OUR REPORTER

Build Muscle By Making This Simple Tweak to Your Training Program

vega

Abawagizi ba Gen. Muhoozi batadikidde mu ggiya okutongoza obukiiko.

OUR REPORTER

Leave a Comment