23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Ojok Oulanyah yemulugunya lwa Bobi Wine butamuwagira kukifo ky’omubaka wa Omoro.

Munnakibiina ki NRM era mutabani wa Jacob Oulanyah, Andrew Ojok Oulanyah,  nga yeesimbyewo okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Omoro mu Palamenti ategeezezza nti yali asuubira Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu okumuwagira mu kalulu kano.

Ojok agamba nti Kyagulanyi alina kuba nga awagira abavubuka abato okutwala obuyinza naye yeewunya bweyalaba alonzeewo omuntu atuuse okubeera Jjajja we okuvuganya ku kifo kya Omoro.

Ojok, bino yabyogeredde mu  nteekateeka y’okukubaganya ebirowoozo nga abeesimbyewo ku Mmande buli omu mweyalagidde byategese okukolera abantu ba Omoro.

“ Nasuubira Bobi Wine okuwagira abavubuka nga nze mu kalulu kano naye yasalawo kulondawo Jjajjange, neemanyi era ne Katonda akimanyi nti nsobola, kuno kuyitibwa naye abantu bwebandaba eyo ebeera ndowooza yabwe, ” Ojok bwe yagambye.

Ojok yannyonnyodde nti wadde Simon Toolit eyaliko mu kibiina ki FDC nga kati ali mu NUP, akoledde abantu ba Omoro ebintu bingi naye akkirize  nti kano kaseera ka bavubuka bato era akkirize be baba batwala obuvunaanyizibwa mu maaso.

Wabula omu ku bavuganya ku kifo kino Jimmy Onen agamba nti ekifo ky’omubaka wa Omoro tekirina kuba kya nsikirano wabula Ojok, yategeezezza nti tazaalibwa Oulanyah kyokka naye alina obusobozi bwonna okulembera ekitundu kino era nasaba banne okumwegattako.

Abalala abali mu lwokaano luno mulimu;  Kizza Oscar (ANT), Odong Justine (FDC), Odonga Terence (IND), Onen Jimmy Walter (IND) ne Tolit Simon Akecha (NUP).

Era okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda,  okulonda mu Omoro kugenda kubaawo ku Lwokuna nga May 26, 2022.

Related posts

OBUKODDYO MPUUGA BWE YAKOZESEZZA OKUWANGULA BANNE KU KYA LOP

OUR REPORTER

Paasita gwe baakutte n’abaana 20 ebizuuse bitiisa.

OUR REPORTER

Police erina byezudde ku baamenya ekanisa.

OUR REPORTER

Leave a Comment