Abantu ba Ssabasajja Kabaka mu Ssaza Buluuli batandise okugaba omusaayi enkya ya Leero, mu nteekateeka ekulembeddwamu ekitongole ki Kabaka Foundation.
Enteekateeka yokugaba omusaayi mu Ssaza Buluuli yakumala ennaku 5, n’ekigendererwa eky’okulwanyisa ebbula ly’omusaayi mu Uganda.
Batandikidde mu gombolola Mutuba I Nakitoma ne Ssabaddu Nabiswera.
Ssenkulu w’ekitongole ki Kabaka Foundation Omukungu Edward Kggwa Ndagala bwabadde ayogerako eri abantu ba Ssabasajja Kabaka abakedde okugaba omusaayi enkya yaleero, agambye nti mu nakku zino ezebikujjuko n’oluwummula ebbula ly’omusaayi libeera ly’amaanyi, olw’abayizi abajjumbira okugugaba okubeera awaka, so ng’ate abagwetaaga babeera bangi.
Omukungu Ndala asinzidde wano nasaba bannabuliri okujjumbira enteekateeka yokugaba omusaayi okusobola okutasa obulamu bantu omuli abakyala abazaala ,abaana abato ,wamu nabantu abalala naddala ababeera bagudde ku bubenje.