Omweezi gwa Ramadhan guba mweezi gwa kuyitiriza kukola mirimu mirungi omuli no kuliisa ku bantu emmere mu kusiibulukuka oba nfumbe oba nga ssi nfumbe bennyini ne bagyefumbira, akulira ba Imaam mu Mbale sheikh Bilaali Manana yabyogeredde mu ddarasa ku Masjid Plot 6 bwe yasabye abantu Allah beyawa ku ssente okuyitiriza okusiibulukusa abasiibi, kubanga bangi basiiba nga tebalina kya kusiibulukukirako. Nnabbi Muhammad (s.a.w) yagamba Abakkiriza nti.

Abange mmwe abantu, musaasanye ssalaamu, mulisaganye emmere era musaale nga ekiro abantu nga beebase, Allah ajja kubayingiza ejjana mu mirembe. Mu Haddith eno sheikh Manana essira yalitadde ku kuliisa bantu mmere kubanga mulimu emikisa mingi. Era sheikh yasabye abagagga bwe bafumba emmere bayite abantu abetaavu abatalina, kyokka ate ensobi gye bakola bayita bagagga bannaabwe abatali ba nnannyini mmere. Kirungi okugaba emmere nga ssi nfumbe kubanga wabeerawo abatasobola kujja nga obayise, ate kirungi nnyo okufumba noliisa abantu emmere nga nfumbe. Kiba kirungi emmere okugitwaala ku mizikiti ne mugikwaasa ba Imaam kubanga be basinga okumanya abetaavu be balina mu kitundu.