17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Okuwulira obujulizi mu gwa Sipapa kwongezeddwayo.

KUWULIRA obujulizi mu gwa Sipapa kwongezeddwayo, looya we talabiseeko mu kkooti ng’ate n’omujulizi taliiwo.

Omusango gwabadde gukomyewo mu kkooti omujulizi era awaaba Waada Atsushi amaleyo obujulizi bwe ssaako okuleeta lisiiti kwe yagulira ebintu ebyabbibwa wabula omuwaabi wa gavumenti n’ategeeza nti Waada tali mu ggwanga.

Fayiro eno Charles Olimu amanyiddwa nga Sipapa avunaanibwa okumenya ofiisi n’abba ebintu ssaako ssente enkalu nga byonna bibalirirwamu obukadde 169.

Waada Atsushi (50), ng’abeera Muyenga era amyuka akulira kkampuni ya New Jack Ltd y’abadde alina okumalayo obujulizi , kyokka ne Geoffrey Turyamusiima teyabaddewo kubanga yabadde n’omusango omulala mu kkooti Enkulu.

Omulamuzi Esther Adikini yawadde olwa April 27,2023 omusango lweguba guddamu okuwulirwa.

Oludda oluwaabi lugamba nti Sipapa nga February 3,2019 e Kisugu mu munisipaali y’e Makindye mu Kampala n’ekigendererwa eky’okuzza omusango gw’obubbi yamenya era n’ayingira mu ofiisi ya Atsushi Waada.

 Oluvannyuma lw’okumenya ofiisi eyo kigambibwa nti Sipapa yabba amanda (Camon Batteries), lenzi za kkamera 11, compact flashes, kkompyuta munaana, filters ttaano, hard disc nnya, ne dictionary ey’okumutimbagano emu.

Era kigambibwa nti yabba ensawo ey’oku mugongo, n’ebintu ebyamasannyalaze okuli; electric book, extension tube, ensawo ya laptop ssaako ssente enkalu 169,059,085/- nga byonna bya Waada.

Waada baamubuzizza ebikwata ku bintu by’agamba nti byabbibwa kyokka nga talina liisiti zikakasa bwannannyini era kkooti n’emulagira okuzireeta nga March 3, 2023. 

Related posts

FORTEBET DONATES 15M TO HOSPITAL CONSTRUCTION.

OUR REPORTER

Abawagizi ba Gen. Muhoozi batadikidde mu ggiya okutongoza obukiiko.

OUR REPORTER

Abayizi ba P.7 batandise okukola ebigezo bya UNEB 2023.

OUR REPORTER

Leave a Comment