Okuwulira omusango gw’ebyokulonda ogwaloopwa munnakibiina kya NUP Betty Sentamu ng’era mwannyina wa Robert Kyagulanyi Sentamu mwawakanyiza obuwanguzi bwa Munnakibiina kya NRM Sylivia Nayebare ng’omubaka omukyala omulonde owa District ye Gomba kujulidde mwaka gujja 2023.
Oludda oluvunaanibwa lulemereddwa okuwa kkooti kalonda yenna eyetagisibwa mu musango guno, nga bwerwali lwalagirwa.
Omulamuzi wa kkooti e Mpigi Alex Ajiiji yali yalagira enjuyi zombi okuteekamu kalonda yenna akwata ku musango mu buwandiike obutasukka nga 17th omwezi oguwedde ogwa November,2022.
Wabula okuwulira omusango bwekutuuse, nekizuulibwa nti bannamateeka bomubaka Nayebare tebaabiwaayo era kkooti kwekubalagira okubiwaayo obutasukka mwezi guno ogwa December ,2022 ate olwo omusango guwulirwe nga 23rd Gatonya 2023.
Kinnajjukirwa mu August 2021, kkooti enkulu e Mpigi ng’ekulirwa omulamuzi Richard Wabwire yagoba omusango guno, oluvannyuma lwokukizuula nti Betty Sentamu yalemererwa okusasula emitwalo 150,000 egyetagisa okuteekayo omusango mu kkooti, yali yasasulako emitwalo 100,000 gyokka násigala ngabanjibwayo emitwalo 50,000.
Oluvannyuma lw’omulamuzi okugugoba Betty Ssentamu yasalawo okujulira .
Abalamuzi ba kkooti ejulirwamu 3 nga bakulemberwamu Irene Mulyagonja, bakkiriziganya ne Sentamu nti kkooti enkulu yayolesa obunafu okumala gagoba omusango ku kasonga akatono ak’ensimbi emitwalo 50,000 ezempaabi.
Baategeeza nti omulamuzi yandibadde amulagira okuzisasula, nerema kugoba bugobi musango nga teguwuliddwa, bwebatyo nebalagira guddemu guwulirwe mu maaso gomulamuzi omulala.
Mu kalulu kano akaali akaakaasa mmeeme, akakiiko k’ebyokulonda kaalangirira omubaka Nayebare nti yeyawangula nobululu emitwalo 30, 253 ate munna NUP Betty Sentamu bwebaali ku mbiranye n’afuna obululu 22, 657 ku bululu 55,643 obw’akubwa.
Wabula Sentamu awakanya obuwanguzi bwa Nayebare gw’alumiriza okubba akalulu nókugulirira abalonzi.