Abadde omumyuka wa sipika wa palamenti Jacobo Olanya awangudde abadde mukamawe Rebeeca Alitwaala Kadaga mukalulu akabadde akakasameme akabade kakubirizibwa ssabalamuzi Owinyi Dolo.

Okuvuganyokwamanyi kubadde wakati wa abadde sipiika Rebeecca Alitwaala Kadaga n’omumyuka we Jacobo Olanya wamu ne muna FDC Ssemunjju Nganda nga okuvuganya okwa amanyi kubadde wakati wa abadde sipika Kadaga ne omumyukawe Jacobo Olanya nga gyebigwerede nga Jacobo Olanya afunye obululu 310 ate ye Rebecca Kadaga nga afuna obululu 198 mukalulu akakubidwa ababaka 525 nga obululu bubiri bwe bufude.
Ssabalamuzi Owinyi Dolo agenze mumaso nalangilira Jacobo Olanya okubera sipiika wa paramenti ye 11.
Nga okukuba akalulu tekunaba Ssabalamuzi asose kutegeeza ababaka amateeka agafuga okulonda sipika wa palament era oluvanyuma nabasaba baleete amanya gaabo abegwanyiza ekifo kino.
Wano babaka baleese amanya asatu okubadde elya Rebecca Kadaga, Jacobo Olanya owa Nrm ne Ssemujju Nganda Muna FDC nga obweda buli aleeta elinya nga ayogera kumuntuwe ebilungi.