23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Olubiri e Mmengo lwawuumye nga Kabaka asimbula abeetabye mu misinde gy’amazaalibwa ge aga 2022.

Olubiri lwa Ssaabasajja Kabaka olwe Mmengo mu Kyaddondo lwawuumye, Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweyabadde alabiseeko eri Obuganda okusimbula emisinde egijjukira amazaalibwa ge ag’emyaka 67.

Obudde bwagenze okuvaako eddiba nga kumpi olubiri lwonna lujudde abantu ababadde beenaanise emijoozi gy’emisinde gy’omwaka guno era bano obwedda buli atuuka nga atandikirawo okugolola ebinywa awamu n’okweggyamu empewo wakati mukulinda Omutanda.

Omuteregga mu lubiri yatuuse ku ssaawa 1 :10 ez’okumakya nga yawerekeddwako Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Omulangira Richard Ssemakookiro awamu n’abaana b’engoma abalala.

Omutanda yayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Ssentebe w’olukiiko olutegese emisinde gy’omwaka guno Owek. Twaha Kaawaase Kigongo wakati mu nduulu n’essanyu okuva mu Buganda obubadde bukung’aanye.

Beene yagenze butereevu natuula ku Nnamulondo era oluyimba lwa Buganda neluyimbibwa wakati mukusakaanya.

Oluvannyuma Omutanda yasiimye nakwasibwa engule eyamuweereddwa ekitongole ekirwanyisa ekirwadde ki Mukenenya mu nsi yonna ekya UNAIDS ng’eno emukwasiddwa akikulira mu nsi yonna, Winnie Byanyima.

Bweyabadde atuusa obubaka bw’ Empologoma , Katikkiro Charles Peter Mayiga yasabye Obuganda okwekuuma ekirwadde ki Mukenenya nga beetangira amakubo mwekiyita kubanga gamanyiddwa.

“Ssaabasajja Kabaka abaagala muli balamu, mwezimbe, mukole, mulime emmwaanyi, musobole okwekulaakulanya,” Owek. Mayiga bw’agambye.

Mayiga yeebazizza abantu ba Kabaka  omuli abaana, abato, abayimbi, abakadde awamu n’abantu abalala olw’okugula obujoozi okusobozesa enteekateeka eno okugenda mu maaso.

Bwatyo Nnyinimu yasiimye nawuuba bbendera okusimbula abaddusi  nga yatandise naba Kiromita 21 nazzaako abe kumi olwo ate nasembyayo ab’ettaano wakati mu nduulu n’essanyu eribadde libula okutta abantu olw’okulaba ku Nnamunswa.

Abaddusi bano babadde bawerekerwako zi Ambyulensi awamu n’abasawo abakugu okwerinda embeera yonna eyinza okutuukawo.

Olwo abasigadde okuddukira mu lubiri nabo nebakola dduyiro nga balambikibwa Omulangira David Wasajja, Katikkiro Mayiga n’abakugu abalala wakati mukusanyusibwa okuva ewa bayimbi okuli Mesach Ssemakula ne Mathias Walukagga.

Ekitongole ki Uganda Red Cross awamu n’ebitongole ebirala bibadde bulindaala era obwedda buli muddusi akomawo nga teyeewulira bulungi nga bamunyiga ebinywa awamu n’okumubudaabuda.

Abantu ab’enjawulo abeetabye mu misinde gino beebazizza Kabaka olw’okufaayo okutumbula eby’obulamu wamu n’okulumirirwa omwana omuwala.

Kinajjukirwa nti guno mulundi gwa kusatu ng’emisinde gino giddukirwa ku mulamwa gw’okulwanyisa ekirwadde ki Mukenenya nga omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti, “Abaami ffe basaale mukulwanyisa Mukenenya, tutaase abaana ab’obuwala.”

Related posts

Yaaya eyabba ssente za Mukama we  asindikiddwa e Luzira.

OUR REPORTER

Obunkenke ku kkooti nga Munyagwa ayimbulwa.

OUR REPORTER

Yiga okukozesa yintanenti okukola sente.

OUR REPORTER

Leave a Comment