22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Oluguudo oluva e Buloba okudda e Nsangi lugaddwa.

Abakulembeze mu district ye Wakiso basazeewo okuggala oluguudo oluva e Buloba okudda e Nsangi, oluvanyuma lwa mazzi okwanjala negaziba oluguudo.

Engineer wa district ye Wakiso Mwesigwa Sam ategeezezza nti kino bakikoze okutaasa abantu ababadde bayinza okufunira obuzibu ku luguudo luno.

Ekkubo lino lissala mu mugga Mayanja ogumanyiddwa ennyo okwanjaala buli nkuba lwetonnya negutaataganya ebyentambula mu bifo yonna gyeguyita.

Ssentebe wa District eye Wakiso Matia Lwanga Bwanika, anenyezza ebitongole naddala ekya NEMA, ebiwa abantu olukusa okuzimba ku mugga guno, ate wamu ne police abaayisa Cable za Camera mu bigoma nezikwata ebitoogo nezibiremesa okutambula olwo nebizibikira emiddumu.

Ssentebe Bwanika, ategeezezzanti mukaseera kano tebalina wadde ennussu essobola okweyambisibwa okutaasa ekitundu era nategeeza nti ekkubo lijja kusiggala nga liggale okutuusa nga baduukiriddwa.

Kyokka enginiya Kiwanuka Joseph Mukiibi nga yavunanyizibwa ku makubo gómubibuga mu ministry yebyentambula n’enguudo, ategeezezza nti balinda district ye Wakiso ebawandiikire balabe webatandikira okujikwasizaako ku luguudo luno.

Related posts

Ab’ezikiriza ezigaana abaana okugemebwa bolekedde okusibwa

OUR REPORTER

Amasasi ganyoose ng’amagye gasengula abatuuze ku ttaka ly’ekisaawe ky’e Namboole.

OUR REPORTER

Putin akoze ddiiru n’akulira ba masinala be mu Ukraine.

OUR REPORTER

Leave a Comment