24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Olukwe okwabya Nambooze, bamupangidde asisinkane mzee munkukutu

Ab’ekibiina kya NUP ekikulirwa Hon Bobi Wine n’omubaka  Betty Nambooze (Mukono municipality) bali mu katu oluvanyuma lw’okugwa mu lukwe olwekusifu Pulezidenti Museveni lwatandise okuluka okuwagulawaggula NUP .Ensonda zaategeezezza nti tewali kibobya Museveni mutwe ennaku zino nga NUP oluvanyuma lwokwabya FDC, DP ne UPC era atandise okuwagala ekyambe okusaanyawo NUP.NUP yeesinga ababaka ba opozisoni mu Palamenti era eweza ababaka emekete abatiisa NRM newankubadde yeeri mu kintu. Emitego okuvuba Nambooze gyamaze dda okutegebwa nga kati kiri eri Nambooze okugwamu oba okugibuuka.Mu lutuula lw’akakiiko ka Palamenti akakola ku bisuubizo bya gavumenti Nambooze kakulirwa olwasoose nga kasingako babaka ba NRM, ekiteeso kyaleeteddwa akakiiko kasooke kakyalireko Pulezidenti Museveni banyemu ka chai. Nambooze yabadde alina okulembera banne nga bagenda ewa Museveni kyokka kino Nambooze akyakigaanye.Nambooze naba opozisoni abenkizo nga Col Kiiza Besigye, Erias Lukwago ssalongp meeya wa Kampala , Bobi Wine ngamanyage amatuufu ye Robert Kyaggulanyi Ssentamu n’abalala bakimanyi nti Pulezidenti Museveni siyemuntu gwosisinkana n’kkomawo ng’oli kye kumu.Waliwo ebigambibwa nti Museveni alinga alina akati n’engeri gyacangamu ebintu okukakana ng’abadde owa opozisoni atandise kwogeza birimi.Bano bagamba nti bwatyo bwaze amementula opozisoni eri abo abamusemberedde ne bawa ebyokulabirako bya baminisita Beti Kamya, Joyce Ssebugwawo, Beatrice Alaso n’abalala bangi.  Ababaka nga Betty Chelain Louke,  (Amudat woman),Mariam Naigaga, (Namutumba woman ),John Baptist Ngoya, ( Bokora County)beezinze ku Nambooze agende ewa Museveni nga bagamba nti tekirina buzibu.Bano ne bannabwe abalwana okulaba nti Nambooze ne Pulezidenti bagasimbagana bawanuuza nti tolina bwokola mirimu gy’akakiiko kano nga toyogereganya na Pulezidenti akola ebisuubizo bino.Kyokka Nambooze agamba nti talina kyayagaza Museveni nti akakiiko kasobola okukola ne ssaabaminisita oba minisita wensonga ezobwa Pulezidenti.Yatuuse nokigamba nti oba balemeddeko basobola okwerondamu omubaka omu nabakulembera lwe bagenda ewa Museveni wabula ye kikafuuwe.Ensonda zaategeezezza nti Nambooze wadde akyabuuse naye NRM emupangira emukuule ebinnyo nti tebagenda kupowa.” Nambooze asobola okugaana okusooka kyokka tugenda kumuwa omuguwa muwanvu. Watya nga kinetaagisa akakiiko okuyita Pulezidenti wakati mu mirimu gyako ng’ogyeko bino ebyokumibuuzaako? Watya nga bamutadde ku lugendo lwa Pulezidenti mu ggwanga erimu ebweru?” Ono owa NRM bwe yategeezezza.Nambooze eyasooka okuba owa NRM nasomesa ne chakamuchaka oluvanyuma yeegatta ku opozisoni era yoomu ku bakubwa enyo mu byokuyisa ekiteeso kyokugya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti okwesimbawo.ReplyForward

Related posts

Ssaabalabirizi Kazimba yeddiza obuyinza bw’obulabirizi bw’e Luweero.

OUR REPORTER

FUFA ekalize abazannyi ba Mbale Heroes

vega

Omusawo atondose n’afa ng’ali ku mulimu n’asattiza bakozi banne.

OUR REPORTER

Leave a Comment