Aba boda boda mu Kampala bawanyiza etekateeka ya gavumenti gyebaleseeeko ey’okubakebera emitwe nebagamba nti eryo libeera joogo bakwate abo bokka bebasanga bakuba amayinja nga bali mu mulimu gwa boda boda bebabeera bakebera emitwe .Bano basinzidde ku kisaawe e Kamwokya ekiri ku poliisi gavumenti webadde etongoza etekateeka y’okukebera aba boda boda emitwe n’amaaso etongozeddwa minisita wa Kampala Hajati Minsa Kabanda, nga yetambyeko minisita omubeezi owa Kampala Kabuye kyofatogabye , Haji Abdalah Kiyimba nga ono yeyalondeddwa okubeera omuyima wa boda boda mu ggwanga nga yazze mu kifo kya Abdalah Kitata eyali omuyiwa wa kibiina kya boda boda 2010.
Aba oda bpda bagambye nti etekateeka y’okubakebera emitwe ejjuddemu eby’obufuzi bingi omuli okubajako ensimbi emitwalo 5 ssente zebatalina kubanga piki piki bavuga za bagagga abalala bavuga za loooni nga okwejako emitwalo 5 nozisasula mu biutu ebitayamba obeera obafirizza.
Bongeddeko nti tebawakanya nkulalukulana wabula bawakanya eky’okubakebera nga basasuzza ssente wakiri gavumenti eyagala okubakebera yandibasasulidde ssente zonna ezibsasibwa naye kano kakoddyo kakubabba.
Baweze nga bwebatagendera kugondera ntekateeka eno kubanga abajikulembeddemu benonyeza byabwe era singa banabagoba mu kampala nga tewandiisiza bagenda kwekalakaasa kubanga abaleeta etekateeka eno tebasooooka kubasomesa nakubebuzako .
Kabanda agambye nti gavumenti asazeewo okukebera aba boda boda bona emitwe nga batandise nakukebera ba vugira mu Kampala Central webanamala bazeeko aba Wakiso, Mukono , nebitudu ebirala nga etakateeka egendereddwamu okumanya omuwendo omutuufu ogw bavuzi ba boda boda basobole okubagereka sitegi bamalewo balubyanza abagambibw nti bebenyigira mu bumenyi bwa mateeka era oyo yennaanawanya naganaa okwewandiisa tagenda kuddamu kukolera mu kampala.
Bino webidde nga ne loodi meeeya wa Kampala Saaalongo Erias Lukwago yavuddeyo nawakanya eky’okuwandiisa ab boda boda nagamba ni aba kikulembeddemu tebalina teeka lyebayiseemu nga etakateeka eno erina kumala kuyisibwa mu kanso.
Kyofatogabye asekerede abalemesa entekateeka nagamba nti bazanyira kulyanda nti ababoda balina okwewandiisa webanamala belondemu obukulembeze , okuva ku muluku okutuuka ku disitulikiti ekyo wekiggwa belondemu obukulembeze obwa wamu nga webakola aba takisi oyo alwanyisa etakateeka eno akikomye kubanga abeera abalwanyisa gavumenti.