24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireFeatured

OMUBAKA ADDUUKIRIDDE AMALWAALIRO 2, AGAWADDE AMBULENSI

Mu kawwefube w`okutumbula eby`obulamu mu district ye Pallisa, omubaka wa Agule county Polycarp Ogwari adduukiridde amalwaaliro 2 okuli erye Kameke Healthy center III ne Agule Health center III mu kugonza ku mbeera ye by`obulamu naddala abalwadde okutindigga enngendo nga okunoonya obujjanjabi, mu kuwaayo ambulensi zino omubaka we Agule county Polycarp Ogwari yagambye nti abatuuze bakalubilirwa nnyo okugenda mu ddwaaliro e Pallisa kubanga olugendo luwanvu naddala abakyaala abalumwa okuzaala ebiseera ebisinga abamu bazaalira ku makubo, ate abalala abaana nebabafiira mu mbuto oluusi ne bennyini ba maama okufa. Ambulensi yazikwaasizza RDC we Pallisa Majiidu Dhikusooka ono eyasabye abaziweereddwa okuzikozesa emirimu gyennyini gye giteekeddwa okukola.

Amyuuka DHO we Pallisa Okolimong Charles yebazizza omubaka okwelereza nadduukilira abatuuze n`okussa ettaffaali ku by`obulamu. Abatuuze baasabye ababaka abava mu North Bukedi okubayamba ku ddwaaliro lye Pallisa lifuulibwe referral hospital okusinga okugenda e Mbale ate nga omujjuzo mungi, ababaka okuli Richard Oseku owe Kibbaale County ne Kaala Kevin Ojinga omukyaala owa Pallisa basuubizza okukola ekisoboka okutuusa eddoboozi lyaabwe eri minisita we by`obulamu asuumuse eddwaaliro lino mu kiseera kino likola district 5 okuli Namutumba, Kibuku, Butebo, Pallisa ne Budaka

Related posts

UNBS erabudde abantu ku bubbi obw’olukujjukujju obukozesebwa abasuubuzi.

OUR REPORTER

Parliament etandise okunoonyereza ku KCCA.

OUR REPORTER

Thank you: Fortebet to Hoima, Kiboga, Masindi, punters.

OUR REPORTER

Leave a Comment