17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Omubaka Dr. Twaha Kagabo azizzaayo obukadde 40 .

Omubaka wa Bukoto South  Dr Twaha Kagabo yazizzaayo obukadde bwa silingi 40 okugondera ekiragiro kya Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu.

Kigambibwa nti obukadde 40 zezaweebwa buli mubaka nga akasiimo olw’okuyisa embalirira y’enyogereza ey’obuwumbi 618 nga kuzino kwali obuwumbi 77 ezagenda mu maka g’Obwapulezidenti mu June w’omwaka guno.

Ensimbi zino zayisibwa ebula olunaku lumu lwokka eggwanga lisomerwe embalirira y’omwaka 2022/2023  abasinga kyebakubamu ebituli.

Oluvannyuma lwa kino, Akulira NUP, Robert Kyagulanyi  Ssentamu yawa ababaka b’ekibiina kye essaawa 48 nga ssente zino bazizizzaayo nga agamba nti zaali zakibi wabula tewali yaziwaayo.

Kagabo ayingidde woofiisi y’ akulira oludda oluwabula gavumenti  n’ebisawo bya ssente zino era nakakasa nti yekubye mu mutima nalaba nga ssente zino zigwaanye okuzibwaayo.

Ono Mpuuga yamubuuzizza gyeyaziggya era nategeeza nti yazinona mu maka ga Sipiika Anita Among.

Wano Owek. Mpuuga  yamuwadde abamu ku bakuumi be bamuwerekereko okuzizzaayo mu maka ga Sipiika gyagamba nti gyeyazifuna.

Owek. Mpuugha atendereza Dr Kagabo olw’obuvumu nasaba ababaka abalala okumulabirako.

Kinajjukirwa nti Palamenti yesamba ebintu by’ensimbi zino era eriko ekiwandiiko kyeyafulumya nga June 15th  okwali omukono gwa Chris Obore nga agamba nti byonna byali bigendereddwamu okwonoona erinnya lya Sipiika Anita Among.

Related posts

Ssentebe awerennemba na gwa kubba mmotoka ya Gavumenti.

OUR REPORTER

Owek. Hajji Amis Kakomo  yasabye Bannayuganda okwekwata obulimi n’obulunzi.

OUR REPORTER

Abasuubuzi balaajanidde gavumenti ebataase ku mabanja gebalina .

OUR REPORTER

Leave a Comment