MUBENDE: Omubaka w’e Buwekula county mu disitulikiti y’e Mubende adduukiridde abantu ne ttani kkumi ez’akawunga nga zino z’enkana kkiro 10,000 mulamba abantu be basobole okubaako kebazza eri omumwa. Kinno kiddiridde abantu okuva mu ssaza lino ly’akiikirira okumukaabira nga bwebafa enjala
Omubaka yategeezezza Ssekanolya nti abantu babadde basusse okumulaajanira nti bo bali bubi nnyo nga eky’okulya bawamanta kiwamante naye kwe kuvaayo ne kkiro omutwalo mulamba ogwa kawunga. Omubaka Pascal yategeezezza nti abantu abasinze okumukaabira be bavuzi ba bodaboda okuva mu ssaza linno ery’e Buwekula.
Ono era yategeezezza nti yasazeewo akawunga kano kasooke kagende mu ba bodaboda ku siteegi za ba bodaboda wonna mu ssaza ly’e Buwekula. Ng’era obuwunga buno yabukwasizza ssentebe wa ba bodaboda mu disitulikiti y’e Mubende omwami Kafuuma Joseph. Kafuuma Joseph yategeezezza Ssekanolya nti aba bodaboda bonna mu disitulikiti bali 12114 okwetooloola disituliki yonna. Era weyeebalizza omubaka olw’obuyambi buno. Era wanno Kafuuma wayongeredde okusaba gavumenti, ebitongole wamu n’abantu bonna mu disitulikiti okuvaayo okudduukirira aba bodaboda kubanga mu kiseera kino eky’okulya tebakiraba.
Omubaka yategeezezza nti akawunga akasigaddewo kagenda kugabanyizibwa mu magombolola ana agakola essaza lino ery’e Buwekula. Nga buli ggombolola lyakufuna kkiro 500 buli limu.
Omubaka Pascal yasinzidde ku kitebe ky’egombolola y’e Kiyuuni n’alabula ab’ekibiina kya BUKITAREPA abagenda bagamba abantu nti babeegatteko nti bajja kubafunira ettaka wamu n’okuzza ebitundu ebimu ebya Buganda okudda e Bunyoro n’agamba abantu bano babi nnyo ekintu kyebakola kyawulayawula mu bantu bakiikiriira mu lukiiko olukulu olw’eggwanga, era wano omubaka w’eyategeerezza Ssekanolya nti nga bwali omusannyufu ennyo nti kubanga bamutadde ku kakiiko ak’embaliriira y’eggwanga wamu n’akenguudo.