Bobi Wine yayimba nti …Ono omwana ayagala Mulaasi ne bw’omukuba emiggo, nze mundeke oli omwana anjagala….
Luno oluyimba lutuukira bulungi ku mugole Bushirah Najjuuko 24, muwala wa Siraje Kasagga ne Aisha Nalukenge ab’e Nsangi- Katereke mu Kyengera Town Council eyabuze ng’ava mu ssaaluuni ku Zinab Aziz mu Kampala okumukolako nga yeetegekera okwanjula Farouk Mugalu mu maka g’abakadde be.
Aisha Nalukenge nnyina wa Najjuuko omutuuze w’e Nsangi Katereke yateegeezezza nti muwala we Bushirah Najjuko yali yamwanjulirako omuvubuka omulala Sulaiman Male ow’e Ndejje Namasuba ng’eno gye baasooka okubeera nga tebanajja Katereke.
Omwaka oguwedde Male naye yakyalako mu bakadde ba Najjuko kyokka maama agamba nti omutima gwe tegwamusiima era n’asaba muwala we okumwesonyiwa asigale ne Farouk Mugalu omusomesa w’eddiini.

Kigambibwa nti male yajja asibye enviiri z’ekiraasi era ng’abavubuka abamuwerekeddeko basibye empale ezaakazibwako eza ‘bbalaas’i era nti bonna tebaalina luganda ku Male ekyayongera okunyiiza maama.
Naye Najjuuko ye yagambye nti afiira ku Male tayinza kufumbirwa musajja bazadde be gwe bamukaka.
Abantu bangi bavuddeyo ne banenya abazadde olw’okukaka omuwala okufumbirwa omusajja gw’atayagala ate ng’abamu bagamba nti eriiso ly’omukulu awaddugala we walaba.
Waliwo Abarasi abagamba nti bbo bwe bakwata ku muwala kizibu okumuleka mbu kubanga balina obukodyo bw’omukwano bungi nnyo abawala bano bwe beetaaga.
Bbo Abasiraamu abasing bagamba nti Omusomesa w’eddiini yandikoze obufumbo obulungi ne Najjuko era nti tekirina mutawaana ku mufunira musajja kubanga muwala atuuse okufumbirwa.