Katikkiro w’ ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu alabudde abazadde ku bulabe bw’okwesamba abaana nabasaba okunyweza enkolagana n’abaana kiyambe ku bikolobero mu baana omuli n’okwetuga.
Okwogera bino Omuk. Moses Luutu abadde atikkula abalyannaka okuli ab’ eggombolola ya Mutuba III Nyimbwa ne Ssaabawaali Kalangala Amakula ga Ssaabasajja ku Lwokusatu mu Lubiri e Mmengo .
Omuk. Luutu agamba nti abazadde ensangi zino bataddewo omuwaatwa wakati wabwe n’abaana nebawa ebisomoozo okwagaanya okubaggya ku mulamwa olw’obutamanya kigenda mu maaso mu bulamu bw’abaana babwe.
Ono annyonnyodde nti singa abazadde badda ku buvunaanyizibwa bwabwe kisobola bulungi okukendeeza ku muwendo gw’abaana abonooneka ensangi zino awamu naabo abasalawo okweggya mu bulamu olw’ebizibu ebitono byebasanga.
Omuk. Luutu ayongeddeko nti singa kino kikolebwa kyakuyambako nokukomya ebikolwa byabaana okwetuga ebirabise nga bimyase ensangi zino.
Abaleese Amakula Omuk. Luutu abasiimye olw’ okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe era nebafaayo okubutuukiriza.
Ye Omumyuka Asooka owa Kangaawo, Margaret Mutyaba Namagambe alaze obwennyamivu ku bantu abeesomye okutyoboola obutondebwensi kyagambye nti kyekimu ku kiviiriddeko ekyeeya ate nokukyankalanya embeera yobudde.
Bo Abaami ba Kabaka abakulembeddemu bano beebaziza Obwakabaka olw’amaanyi gebutadde mu kutumbula embeera z’abantu n’okubaggya mu bwavu.
Amakula agaleeteddwa mulimu, emmere, ebibala awamu n’ebisolo.