Katikkiro w’ebyalo bya Ssaabasajja Kabaka, Omuk. Moses Luutu asabye abazadde okufaayo ennyo ku nkuza y’abaana abawala kibayambe okufuna ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.
Okusaba kuno Omuk. Luutu yakukoledde mu Lubiri e Mmengo bweyabadde atikkula Amakula okuva mu bantu ba Kabaka ab’eggombolola ya Mituba xv Kirumba mu Buddu.
Omuk. Luutu yategeezezza nti singa abazadde bafaayo ku baana abawala kijja kusobola bulungi okubatangira emize emibi awamu n’okutulugunya abalala kuba ebikolwa bino birina akakwate ku nkuza y’abaana.
Ono yabakubiriza okuba abasaale mu kulwannyisa akawuka ka mukenenya okulaba nga kalinnyibwa ku nfeete olwo ensi yeyongere okugenda mu maaso n’okukulaakulana.
Bano bategeezezza nga bwebatawanyizibwa ekibbattaka mu kitundu kino era nebasaba Obwakabaka okubayambako okulwanyisa abasumbuyi bano.
Abamu ku bakiise embuga bakubiriza abantu ba Ssaabasajja okufaayo okutuukiriza ennono yabwe kubangwe bwebumu lu buvunannyizibwa bwabwe.