Poliisi y’e Nateete ng’eduumirwa OC Hassan Ssekalema ekutte omukazi Jane Zalwango ow’omu Kabaawo zzooni e Nateete n’enjaga gy’asuubula mu byalo okuli Mityana ne Mpigi n’agireeta n’agitunda mu bitundu okuli Kabowa, Kabaawo, ku Railway, Kajumbi ne Mutundwe.
Abatuuze b’omu Kajumbi be baatemezza ku poliisi ku mukazi ono abadde yaakasenga ku kitundu.
Ssentebe wa zzooni ya Kajumbi, John Kigaga yategeezezza nti omukazi ono abadde tamumanyi mu kitundu kye n’asaba abasenga mu kitundu okweyanjulanga ku LC ebamanye.
Akulira poliisi y’e Nateete, Sekalema yategeezezza nti abatuuze bwe baaloopa omukazi ono, baasooka kusindikayo abanoonyereza ne bagenda ng’abaguzi be baamusanga ng’alina enjaga ebalirirwamu obukadde busatu n’akwatibwa.
Yagambye nti essaawa yonna bamutwala mu kkooti. Yagguddwaako omusango ku ffayiro SD: 89/11/12/2022.