Nakigudde Costa akutte ebintu bye byonna ebye waka, saako ensolo n’enkoko neyeggalira nabyo munju n’agiteekera omuliro, wabula abatuuze bamusiseeyo nga yenna ajjudde ebisago by’omuliro.
Bino bibadde ku kyalo Ttala mu muluka gwe Butayunja mu gombolola ye Kibinge mu district ye Bukomansimbi.
Abatuuze bagamba nti Nakigudde abadde n’essungu, olwa bba okumala ennaku enkulu zonna nga tasula waka, ate oluvannyuma nawulirako nti yaganzaayo omukazi omulala.
Nakigudde nga taneeyokya asoose kuyita abaana be n’abaako gy’abatuma akagendo nga kawanvuko, alabye babuliddeyo kwekuyingiza ensolo omuli embuzi n’embizzi by’abadde alundira ku miguwa awaka, n’enkoko n’abisibira munju mwebasula, n’ajikolezaako omuliro naye n’ajiiramu.
Omu kubakulembeze b’ekitundu Sserwadda Sowed awadde abantu amagezi obutakuuma busungu kiyitiridde, wabula babuulireko abantu abalala babawe ku magezi ku ngeri y’okwanganga ebibasomooza.