17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Omukuumi akubye muganzi we amasasi naye neyetta.

Poliisi mu bbendobendo lya Busoga ey’obuvanjuba etandise okunoonyereza ku ttemu eribadde e Bugade mu district ye Mayuge nga bukya.

Omukuumi w’ekitongole ky’obwanannyini ekya priority one security group amangidddwa nga Enyanya Steven yaakubye muganziwe Ayayo Sarah amasasi agamusse, n’oluvannyuma naye neyetta.

Omwogezi wa police mu kitundu kino SSP Nandaula Diana agambye nti  tebanategeera kituufu kivuddeko Enyanya kwenyigira mu kikolwa kino, wabula batandise okunoonyereza.

Emirambo gyombi gitwaliddwa mu ggwanika gyekebejjebwe nga n’okunoonyereza kugenda mu maaso.

Related posts

Obwakabaka  bwa Buganda bulabuddeHamis Kiggundu ne kkampuni ye eya Kiham Enterprises.

OUR REPORTER

Makerere University yaakwongera amaanyi mu kusomesa ennimi ennansi.

OUR REPORTER

Owek. Mayiga asabye abalina kampuni okunyweza omutindo.

OUR REPORTER

Leave a Comment