Omulabirizi w’eMityana akalatidde abafumbo okufuba okulabirira obulungi abaana baabwe n’okubasomesa okusobola okubeera n’eGgwanga eddungi.
Bishop Dr James Bukomeko okukubiriza kuno akukoledde ku mbaga ya muwala w’Omulabirizi w’eMukono Samalie Juliet Kisakye Nabaggala ng’ono agatiiddwa ne Rev John Nkuubi okva mu Bulabirizi bw’eNamirembe nga bano basembeza abagenyi baabwe mu Mengo Teachers Hall,Ndeeba era ng’omukolo gwetabiddwako ,Abalabirizi,Ba Canon ,Ba Ssaabadiikoni,Abasumba,Ababuulizi,Abakulira ebitongole eby’enjawulo okuva mu Bulabirizi bw’eNamirembe ne Mukono awamu n’abantu ba Katonda bonna.
Kitaffe mu Katonda Dr James Bukomeko yeebaziza nnyo Katonda abaddewo munteekateeka eno era akalatira abafumbo okufuba okulabirira obulungi abaana baabwe n’okubasomesa okusobola okubeera n’eGgwanga oluvanyuma asabidde abafumbo bano okwongera okubeera obumu ne Mukama Katonda okubagabirira olw’okumuweereza.
Wabula ye Omulabirizi w’Obulabirizi bw’eMukono,Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala asabye abafumbo okufuba okutwala ebisoomooza ng’omukisa n’okusembeza Yesu Kristo mu maka gaabwe kubanga yasobola okubawanirira mubyonna.