Banabyabufuzi bwemukolera abantu tekibetaagisa kunonya kalulu wabula banansi bagala buweereza kubanga tebagala kumanya ani alese obuweereza obulungi,Omulabirizi w’eMukono akubiriza abantu baKatonda okufuba okubala ebibala ebirungi era n’akutira abazadde okuzaayo abaana ku masomero kubanga bye ebimu ebivaako obwavu n’obukodo okubeera mu masinzizo.
Okusaba kuno kukoleddwa Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala mukusaba kw’okusako abaana 34 emikono ku Kkanisa y’Omutukuvu Lukka ku kitebe ky’Obusumba mu Bussabadiikoni bw’eNdeeba n’okusiibula abakristaayo b’Obusumba buno ng’okusaba kwetabiddwako Maama Tezirah Ssebaggala,Canon Ngobi,Abasumba,Ababuulizi,Abakulembeze okuviira ddala ku mitendera egy’enjawulo,Abakubiriza,Abakuku b’amasomero n’abantu baKatonda bonna.

Rev Daniel Muwanguzi nga ye musumba w’Obusumba buno asoose kulombojerera Omulabirizi okusomooza kwebasanze bwe bubbi obukyase ensanzi zino mukitundu kino ate ng’Abakristaayo abasinga tebanadda mu Kkanisa okuva mu mugalo ate abalala tebafudeyo kusomesa baana era basuubira okuzimba n’okumaliriza Ekkanisa awamu n’ennyumba y’Omubuulizi.
Bw’abadde abuulira mukusaba kuno n’okusiibula Abakristaayo b’obusumba buno,Bishop Ssebaggala yeebaziza nnyo Minsita Amosi Lugolobi olw’okufuba okutuusa Obuweereza obulungi eri abantu abamulonda era n’asaba banabyabufuzi okufuba okukolera abantu baabwe kubanga tekibetaagisa kunonya kalulu wabula banansi bagala buweereza kubanga tebagala kumanya kibina ki naye ani alese obuweereza obulungi era wano akubiriza abantu baKaonda okufuba okubala ebibala ebirungi era n’akutira abazadde okuzaayo abaana ku masomero kubanga bye ebimu ebiraako obwavu n’obukodo okubeera mu masinzizo.
Kyokka ye Ssabadiikoni w’eNdeeba ,Ven Charles Bukenya akalatidde abakristaayo okufuba okwewaayo okugya eMukono balambule emirimu egikoleddwa Omulabirizi Ssebaggala n’okuwagira enteekateeka zino omuli essomero lya abasawo(SONAMS),Centinary Community College,Cottage Industry eNakanyonyi ate n’okumanya ssente zzebabadde bawaayo wezigenda.
Mu ngeri y’emu ye omukubiriza wa Lukiiko lwa Disrict ye Kayunga nga yakikiridde omubaka wa Ntenjeru North kumukolo guno era nga ye minister omubeezi ow’eby’ensimbi n’okutekeretekera eGgwanga Hon.Amosi Lugolobi,Speaker Hon.Bulinson Saleh agambye newankubadde omugalo gwakosa nnyo Abazadde naye bakozese omukisa guno bazeeyo abaana ku masomero era ayanjulide Omulabirizi egimu ku mirimu egikoleddwa Minista Lugolobi mu kitundu kino okuzimba amasomero n’amasinzizo era n’okusitula embera zz’abatuze.