Omulabirizi w’eMukono akubiriza abazadde okufuba okuzaayo abaana ku masomero kubanga luno lwe lusoma olusembaayo kyokka nga bajjukira nti obulamu bw’abaana bano okuterera buli mu mikono gyabwe wabula bakole n’amanyi ate oba olyaawo bwe bugagaga bwabwe obw’omu maaso.
Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala okukubiriza kuno akukoledde mukusaba kw’okusako abaana 66 emikono ku Kkanisa y’Omutukuvu Petero Kisaala mu Bussaabadiikoni bw’eNgogwe n’okusiibula abakristaayo b’Obusumba bw’eBuikwe ng’ono ayaniriziddwa Ssaabadiikoni Stephen Kironde ne Maama ,Abasumba ,Ababuulizi ,Ababkubiriza n’abantu ba Katonda bonna.
Rev Dawuson Kakooza nga ye Musumba w’Obusumba buno ayanjulidde Omulabirizi Ssebaggala ku biki bye batuseko ng’Obusumba omuli okuzimba ebisulo by’abaweereza yadde bafiiriddwa abantu bangi omuli n’okulwala ate nga ne bbeyi y’ebintu ekyali waggulu nnyo.
Mukwogerako eri abantu abakristaayo b’eBuikwe n’okubasiibula mubutongole, Bishop Ssebaggala akubiriza abazadde okufuba okuzaayo abaana ku masomero kubanga luno lwe lusoma olusembaayo n’okujjukira nti obulamu bw’abaana bano okuterera buli mu mikono gyabwe wabula bakole n’amanyi ate oba olyaawo bwe bugagaga bwabwe obw’omu maaso.
Okusaba kuno kwetabiddwako President w’ abavubuka mu Bulabirizi bw’eMukono era nga ya Amyuka President w’abavubuka mu Kkanisa ya Uganda Milly Nakirya yeebaziza nnyo Omulabirizi Ssebaggala olw’okwagala ennyo abavubuka n’okubagazisa eKkanisa wabula akubiriza abavubuka okutunulira obuweereza bwa Katonda kubanga ye yabayiita n’asaba abasoma okwewala ebibinja by’abaana ebitabagagsa.