Okulabula kuno Omulabirizi James William Ssebaggala nga ye Mulabirizi w’Obulabirizi bwe Mukono asinzidde kumukolo ogw’okuggulaawo Eddwaliro lya Purple Pharamacy ne Dental Clinic nga bino biri wansi wa Mukono Church of Uganda Hospital munteekateeka y’eKkanisa ya Uganda gyetandiise ey’okutekaawo Purple Pharamcy zino okwetolola Ekkanisa ya Uganda yonna ng’omukolo guno gwetabiddwako omuwandiisi w’Obulabirizi,Rev Canon John Ssebudde,Provost wa Lutiiko y’Omutukuvu Firipo ne Andereya eMukono n’abantu ba Katonda bonna wakati mukugoberera ebiragiro bya ministry y’eby’obulamu olw’okutangira okusasana kw’ekirwadde kya lumima mawugwe.Kitaffe mu Katonda Ssebaggala agamba nti kinakuwaza nnyo abakulembeze abandivuddeyo okuyamba abana Uganda n’emmere mukifananyi eky’okuyamba abalala nga Yesu nebadda kubiteekamu eby’obufuzi wabula bano abalabudde okukikomya okubiyingizamu eby’Obufuzi wabula bayambe abantu baKatonda awatali kutekaawo bukwalizo bwonna.Mu ngeri y’emu Omukungu okuva ku kitebe ky’ekkanisa ya Uganda naddala mukitongole ky’eby’Obulamu,Stephen Engara ayogedde kunteekateeka eno etandiikiddwawo eya Purple Pharamacy kubanga babadde n’okusomooza muby’ensimbi eziyimirizaawo obuweereza bwa Katonda,Wabula ye akulira eby’Obulamu mu District ye Mukono,Stephen Mulindwa yeebaziza nnyo Omulabirizi Ssebaggala olw’obukulembeze obulungi obusoboseza eddwaliro lino okutuuka ku Ddala era wano agenze mu maaso nategeza banaMukono okumanya nti obulwadde bwa Covid 19 bukyaliwo newankubadde busobola okuwonyezebwa mu Ddwaliro nasaba abakulira eddwaliro lino okufuba okumanyiisa abalala ebyuma ebiri wano ebiyamba mukujanjaba.Kyokka ye Medical Suprindant ,Dr Simon Nsingo Kawuma yeebaziza Katonda olw’okubasobozea okutuuka wano era nayanjulira Omulabirizi olw’ebintu byebatandiisewo mu Ddwaliro lino Omuli n’obujanjabi bw’amanyo n’ebirala bingi.
