Omulabirizi w’eMukono akalatidde abayizi okufuba okutya Katonda kubanga omuntu atamanyi Katonda talina gyalaga okusobola okubeera abawanguzi n’saba abazadde okuyigiriza abaana baabwe okubeera abesigwa ate oba mubulamu bwabwe obw’omu maaso tebasobola kubulwa emirimu kubanga bangi babbi.
Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala okukubiriza kuno akukoledde mu Bussaabadiikoni bw’eNasuuti bw’abadde asiibula n’okusako abaana 49 emikono n’okusabira abayizi abagenda okukola ebigezo byakamalirizo ku esomero lya Our Lady of Africa SS Mukono(OLAM) awamu ne Jesjonny Day and Boarding Primary School nga awano agguddewo ekizimbe ekya Nursay section era ng’ayaniriziddwa amyuka Ssaabadiikoni w’eNasuuti Rev Elisa Walusimbi ate nga ye Musumba wa St Dunstan,Abasumba ,Ababuulizi,Abatandiisi b’amasomero gano.
Omwami wa Kabaka ow’eGgombolola mutuba enna Kawuga ate nga ye mutandiisi w’esomero lya Our Lady of Africa (OLAM) Owek Vicent Matovu asoose kutongoza ekitabo ky’omukululo n’ensimbi eziwerera ddala akakadde kamu (1,000,000) era yeebaziza nnyo Omulabirizi olw’enkulaakulana gyalese mu Bulabirizi buno era n’akubiriza abaana abasiddwako emikono obutava munzikiriza eno.
Mukwogerako eri abayizi bano n’abazadde,Bishop Ssebaggala akalatidde abayizi okufuba okutya Katonda kubanga omuntu atamanyi Katonda talina gyalaga okusobola okubeera abawanguzi n’saba abazadde okuyigiriza abaana baabwe okubeera abesigwa ate oba mubulamu bwabwe obw’omu maaso tebasobola kubulwa emirimu kubanga bangi babbi.
Wabula ye omutandiisi w’esomero lya JesJonny Day and Boarding Primary School, Geoffrey Mayanja Ssezibwa abuulidde Omulabirizi Ssebaggala okusomooza kwe basanze nga bbo abali ku masomero g’obwananyini gy’emiwendo gy’ebintu okweyongera wagulu n’asaba abazadde okufaayo eri abayizi nga bagenda muluwumula.