23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Omulabirizi Ssebaggala asabye abazadde okufaayo eri abaana.  

Omulabirizi w’eMukono Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala asabye abazadde okulekeraawo okwesuliraayo ogwanamba naddala eri abaana baabwe mukuwaayo eby’etaagisa kumasomero abalala nebasalawo kubatwala ku masomero amalala nga tebasasudde bikozesebwa gyebavudde ekiretera okuyigiriza abaana obubbi.

Bishop Ssebaggala okwogera bino asinzidde mu Bussabadiikoni bw’eNdeeba bw’abadde alambula n’okusiibula esomero lya Buyobe Church of Uganda Primary School,Tente Church of Uganda Primary School mu Busumba bw’eKanjuki awamu ne esomero lya Bishop Brown Church of Uganda Primary School mu Busumba bw’eNamagabi eKayunga ng’abadde awerekeddwako Rev Geoffrey Kayoye omuwandiisi w’eby’enjigiriza mu Bulabiri buno ng’ayaniriziddwa Ssaabadiikoni Charles Bukenya,Abasumba,Ababuulizi,Abakulu b’amasomero n’abakulira enkiiko za amasomro gano awamu n’abazadde.

Abakulu b’amasomero nga baakulembeddwa Doreen Namuli owa Tente Church of Uganda Primary School ne Omubuulizi Christopher Ssebunya owa Buyobe Church of Uganda Primary School ate nga ye mubuulzi ku kitebe ky’OBusumba bw’eKitege Kawolo mu Bussaabadiikoni bw’eLugazi nga bano bateegezeza okusomooza kwebasanze omuli abazadde abatayagala kuwaayo by’etaagisa kumasomero ate n’abesenza ku Taaka ly’eKkanisa.

Mukwogerako eri abantu ba Katonda bano,Ssebaggala agamba abazadde balina okulekeraawo okwesuliraayo ogwanamba naddala eri abaana baabwe mukuwaayo eby’etaagisa kumasomero abalala nebasalawo kubatwala ku masomero amalala nga tebasasudde bikozesebwa gyebavudde ekiretera okuyigiriza abaana obubbi.

Wabula omukolo guno gwetabiddwako omutandiisi wa Rehoboth Farm nga yawumyemu omutwe mukuziimba eKkanisa y’eBuyobe n’okuyamba abayizi abagenda okukola ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu eBuyobe, Emmanuel Ssempa Senior akubiriza a bazadde okukuliza abaana baabwe kumusingi ogw’okutya Katonda ate n’abo okusobola okukuuma emirimu egyakolebwa bakadde baabwe era asabye abo bonna Katonda bawadde omukisa okufaayo okukola emirimu gya Katonda.

Related posts

Ssewannyana ne Ssegirinya begaanye eby’okukutula ddiiru yonna n’abanene mu government.

OUR REPORTER

Bannauganda abagenda e Denmark bikyabasobedde.

OUR REPORTER

Avunaanibwa okutta Naggirinya asabye kkooti obukadde 50 okwewozaako!!

OUR REPORTER

Leave a Comment