21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Omulambo gwa Babirye eyafiira  e Turkey gukomezebwawo.

Omulambo gwa munnaUganda Babirye Florence eyafiira mu kubumbulukuka kw’ebizimbe olwamutenzaggulu  eyagoya Turkey mu february 2023 ,guteereddwa ku nnyonyi gukomezebwawo mu Uganda aziikibwe gyazaalwa mu district ye Lwengo.

Mutenza ggulu Ono yagoya Turkey ne Syria, yasuula ebizimbe nokubumbulukako kwettaka, ebyatta abantu abasoba mu mitwalo etaano.

Abantu 44,218 bebaafa mu  Turkey, era nga ku muwendo ogwo kwekuli ne munnauganda Babirye Florence, so nga mu Syria 5,914 nebaafa.

Abab’obuyinza mu Turkey omulambo gwa Babirye Florence bagukwasizza omubaka wa Uganda mu kibuga Istanbul ekya Turkey Nusura Tiperu, ng’ali wamu nobukulembeze bwabannayuganda abawangalira mu ggwanga eryo.

Oluvannyuma guteekeddwa ku nnyonyi gukomezebwewo mu Uganda aziikibwe gy’azaalwa mu district ye Lwengo.

Related posts

Abaana babiri bagudde mu nnyanja e Busaabala omu n’afiiramu!

OUR REPORTER

Police egudde mu lukwe lwa bbomu ebadde e Lubaga.

OUR REPORTER

Lukululana etomedde omusirikale nemuttirawo e Sembabule.

OUR REPORTER

Leave a Comment