Omulangira David Kintu Wasajja asabye Abavubuka abalina omukisa okuddayo bongere ku bitabo bweba baagala okuvuganya ku katale k’ensi yonna ak’emirimu.
Okwogera bino Omulangira Wasajja abadde mu maka gw’ Omukungu Mukiibi Muzzanganda e Nasuuti mu kibuga Mukono ku mukolo gw’okwebaza Katonda asobozeseza abaana be abawera 9 okusoma nebafuna zi ddiguli mu masomo agenjawulo n’okuyingira amakaage.
Omulangira Wasajja era asabye abavubuka okwongera ku bukugu bwabwe singa baba bafunye omukisa kubanga okuvuganya ku mirimu era yeemu ku ngeri gyebajja okufunamu obwenkanya n’ensi okubayaayaanira.
Mungeri yemu yebaziza Muzzanganda olwomutima gwayoleseza okwagala ennyo obwabakabaka era nakubiriza abazadde okuyigiriza abaana babwe obuwangwa bwabwe ennono n’olulimi oluganda.
Ye Omuk. Muzzanganda yeebaziza nnyo Katonda amusobozeseza okutuuka kukkula lino era neyebaza abaana be obutamuswaza kubanga abaana babagagga abasinga bagyema okusoma nga wanyonyola.
Ono era yatonedde Nnyina emmotoka Kapyata nga ekimu ku kirabo eky’okumusiima okubakuza obulungi ngate bayise mukusomozebwa kungi.
Omukolo gutandiise nakusaba okukulembeddwamu omulabirizi wa Central Buganda eyawumula Bishop Charles Bukenya era ngono mukwogera kwe yebaziza omukungu Muzzanganda olw’okuteekateeka abaana obulungi nasaba abaana okwolesa obuyivu bwabwe baleme kutunda bya bugagga bya kitaabwe.