Omulangira David Kintu Wasajja afaalasidde abantu ba Kabaka naddala abazadde okufaayo bayigirize abaana ennono n’obuwangwa bakule nga bamanyi obuvo n’obuddo bwabwe.
Bino Omulangira Wasajja yabyogeredde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu bw’ abadde aggalawo omwaka gw’ Amakula aga 2022 n’okutikkula agaleeteddwa banna Kyaddondo ne Busiro nga ali wamu ne minisita w’Obuwangwa n’Ennono, Owek. David Kyewalabye Male.
Omulangira asabye abazadde okufaayo balabe nti abaana naddala abato bakula bamanyi bulungi obuvunaanyizibwa bwebalina eri Nnamulondo.
Ono agamba nti kino kisobola bulungi okuyamba Buganda okubaako ebikulu byetuukiriza nga bwerinda okufuna Federo okuva mu gavumenti eyawakati.
Minisita Owek. David Kyewalabye Male ategeezeza nti abantu bongedde okuteegera obuvunaanyizibwa bwabwe eri Namulondo ekintu ekiwa essuubi n’okulaakulanya Obwakabaka.
Ye Katikkiro W’Ebyalo bya Kabaka Omuk.Moses Luutu asibiridde bannayuganda entanda mu ggandaalo lino okwewala okujjaajaamya ensimbi zisobole okubayamba mu biseera ebiddako.
Bbo abaami beggombolola ezikiise embuga baweze okwongera okunnyweza obumu ate nokuweereza Beene awatali kumutiiririra.
Omwaka guno eggombolola ya mutuba 3 Makindye Kibuga okuva mu Kyadondo yennywedde muzinaazo akendo mu nteekateeka ya Amakula, negobererwa Ssaabaddu Mugoye okuva e Ssese ate Ssaabawaali Gombe nekwata eky’okusatu.