17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Omuliro gukutte essomero e Kyengera.

Police e Kyengera ng’eri wamu nábakulembeze ba Kyengera Town council bagadde essomero lya Buhkar Primary school Mugongo A okumala wiiki namba nga terisomesa.

Essomero lino okuggalwa kivudde ku Nnabbambula wómuliro akutte ebisulo byábayizi, ebintu byabwe byonna omuli emifaliso ne keesi byonna nebifuuka muyonga.

Abasomesa ku somero lino bagamba nti omuliro teguvudde ku masanyalaze wandiba nga waliwo owetima abokeredde

Director we ssomero liro Kawuki David Kawuki agambye nti tewali muyizi afunye biwundu, wabula ab’ebyokwerinda babategeezezza nti essomero ligire nga liggalwa abayizi baddeko ewaka, okukendeeza ku mbeera ey’entiisa gyebayitamu.

Mayor wa Kyengera town council Mathius Mulumba Walukagga awanjagidde ebebyokwerinda bakole okunonyereza okwamangu bazuule ekivuddrko omuliro guno.

Related posts

 URA basaanyizzaawo emmaali etalina sitampu ya Musolo.

OUR REPORTER

Omuliiro gusaanyizaawo byabukadde.

OUR REPORTER

Abadde RDC w’eKayunga Hajji Nsereko Mutumba afudde.

OUR REPORTER

Leave a Comment