17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireEbyobusubuziFeatured

OMULIRO GUSAANYIZZAAWO BYA BUKADDE MU GGARAGI E MBALE

Omuliro ogutannategeerekeka kweguvudde gwokeeza negusanyaawo amaduuka ga ssipeeya we mmotoka omuli yingini, endabirwaamu, oyiro, ggiyabbokisi, emipiira ne bilala. Guno mulundi gwa kusatu mu bbanga lya myeezi 4 nga omuliro gwookya ggaragi eno era ete ku luno ebintu bingi ebisanyeewo okusingako ogwasooka wadde nga bonna baafiirwa ebintu ebilalilirwaamu bukadde na bukadde bwa nsimbi, ba makanika bategeezezza nti omuliro guno gutandise muttumbi ku ssaawa 9, era poliisi neyitibwa, wabula nga wetuukidde omuliro gubadde gumaze okutaama wadde egulwanyisizza neeguzikiza.

Difensi wa ggaragi Muhammad Kyakulaga abambye nti omuliro nabo gubasobedde okwokyanga ebitundu ebisinga okubaamu ssippeeya owa ssente ennyingi, abasinga mu ggaragi muno mbasuubuzi ba ssipeeya era kino kibakwatirizza nga bali mu looni kati bagamba tebamanyi kya kuzzaako. Wabula bakukkulumidde abakulembeze emirundi esatu omuliro gye bwakabookya tewali mukulembeze yenna yali agenze kubalambulako bamukaabire ebizibu byaabwe.

Omwogezi wa poliisi mu nbitundu nbya Elgon ASP Rogers Tayitika yagambye nti poliisi ebadde ekyanonyereza ku kyaviirako emiliro ebiri ate newakwaata omulala, naye era okunonyereza kukyagenda mu maaso, naye ngakiteberezebwa nti kivudde ku masannyalaze. 

Related posts

Omugole eyabuze yagambye nti tayinza kufumbirwa musajja gwatayagala.

OUR REPORTER

The Best Exercise to Do If You Have Tight Hips

vega

Bbaasi etomedde ttuleera ddereeva yenafiirawo.

OUR REPORTER

Leave a Comment