Omuliro oguvudde ku masannyalaze gusaanyizzaawo ennyumba mu Kitaka zooni e Busega mu munisipaali y’e Lubaga.
Rosemary Nantumbwe abadde asula mu nju eno, we yakwatidde omuliro yabadde agenze katele kyokka ng’aleseemu omwana ow’emyezi omwenda

Baliraanwa baagezezeeko okuguzikiza bwe baasambye pluggikyokka ng’ebintu okuli, sideboard, ekitanda , entebe, ne ttivi biweddewo naye omwana ne bamutaasa.

Oweebyokwerinda mu kitundu, Ivan Mutagubye yatuuse mu kifo kino n’akuba omulanga nga bw’atasigazza kintu kyokka ne yeebaza abatuuze okutaasa omwana we.
Akulira poliisi y’e Nateete, Hassan Sekalema yategeezezza nti banoonyereza ku muliro guno.