Omuliro gwongedde ogwokya n’okutta banna Uganda gongede okwelalikirizza gusse abaana , 2 e Makindye
Basonze ku bebatebereza okwokya amasomero , obutale,n’amayumba
BYA VICKY NAKATTE
Abaana 2 bafiridde mu muliro ogwakute ennyumba e Makindye mu zoooni ya Kifamba mu Kampala nebafiirawo .
Ekikangabwa kino kyabaddewo oluvannyuma lwa bano Farida Nanono omutuze w’e Kifamba okusibira abaana babibri okuli Babirye Nabaka 4, Karim Ssembatya 2, mu kazigo ke nagenda okukimanya amazzi awo omuliro wegwatandikidde negwaka negisasanira ennyumba yonna negwokya abaana bona nebasilira nga tebakyategerekeka.
ENGERI OMULIRO GYEGUZE GUKABYA BA NNA UGANDA OMWAKA GUNOGuno omuliro guwezezza omulundi ogw’okubiri mu wiiki emu ogwasoose gwakute polisi ye Katwe ogwayokezza obuyumba bwaserikale okuva omwaka guno wegwatandika omuliro okwokya ebintu ebyenjawulo kati emirundi gisoba mu 7 nga omuliro ogwasooka gwakata essomero lya Kibeddi Day and Boarding primary School ekikangabwa kino kyafiiramu abaana 4 nga 15 January , ku lunaku lwelumu omuliro gwasanyawo esomero e Nakasaeke omwana omu nafiiramu , omuliro ogwaddako gwakwata ebibanda abauubuzi abatunda kasooli n’obuwunga mu kisenyi omu nafiiramu ebintu ebisoba mu bukadde 100 nebisanyizibwawo, omuliro gwakute ekolero lya Vivo energy erisangibwa e Namuwongo abantu 5 nebalumizibwa bino byabaddewo nga 2 omwezi oguwedde , esomero lya Bilal Islamic lyagaddwa yakutte omuliro omwezi oguwedde era abaana nebasindikibwa waka olw’ebintu byabwe okusanyizibwawo mu muliro., omuliro omurala gwakutt ebibanda by’e mbaawo e Bwaise era ebintu ebibalirwamu obukadde nebisanyizibwawo era abasuubuzi be mbaawo nebasigala nga tebalina webatandira .Abamu ku bantu abazze bayokyebwako emaali yabwe bogedde ekivaako omuliro mu bitundu ebimu , bano bagambye nti waliwo abagagga abagala okukozesa ebitundu mwebakolera nga bayanira etaka kati webalemesebwa nga batandika okuluka puaani y’okulemesa abakolera nga bayita mu kukuma omuliro bifo ebyebyo.
Abalala ensonga bagiteka ku masanbyalaze gebamala bayungilira mu bitundu nga waya wezifuna wezeggattira nga zikwata omuliro ekivaako omuliro ousasanira amasomero n’amayumba.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiliraano Luke Oweyesigyire agambye nti ekitongole ekizikiriza omuliro kigya kuvaayo ne lipooti ku muliro gwonna oguzze gukwata ebifo eby’enjawulo abantu basigale mnga bakamu.,

previous post