17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Omumbejja Nassolo alabudde abazadde ku bannabyabufuzi .

‘Abakulembeze be balinamu essuubi ate bakomekkereza babayiye ekivuddeko abamu okwonoonekera ddala’.

Eyavuganyaako ku kifo ky’Omubaka wa Lubaga South, omumbejja Eugenia Nassolo alaze okutya olw’abannabyabufuzi abakozesa abavubuka mu kuzannya eby’obufuuzi byabwe bwe bamala  okutuuka ku buwanguzi ne babeerabira.

Bino yabyogeredde Nalukolongo bwe yabadde ayogerako eri abazadde n’ategezza nti bannabyabufuzi abamu balina n’omuze gw’okukozesa  abavubuka nga bamu babayigiriza n’emize  emibi ng’okunywa enjaga, omwenge n’ebirala n’ekigenderwa  eky’okubaggyamu okutya balyoke babakozese ekivuddeko abamu okwonooneka.

Nassolo yagambye nti abavubuka bangi naddala mu bitundu eby’omugotteko ebyakazibwako Ghetto abayita mu mbeera eno ey’okunyigirizibwa kyokka abakulembeze be balinamu essuubi ate bakomekkereza babayiye ekivuddeko abamu okwonoonekera ddala.

Yakubirizza abazadde okufaayo ennyo eri abaana baabwe naddala mu kiseera kino eky’oluwummula nga babaagazissa okukola n’okubakuutira okutambulira mu ddiini.

Related posts

EBOLA: Pulezidenti Museveni atabukidde bannayuganda.

OUR REPORTER

Abadde yeeyita omusawo mu ddwaaliro lya UPDF akwatiddwa.

OUR REPORTER

Abaana babiri bafiiridde mu luzzi.

OUR REPORTER

Leave a Comment