23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Omupoliisi eyakutte omugole wakati mu mukolo gw’ embaga akwatiddwa.

Poliisi e Mbarara yakutte  Sgt. Richard Ngabirano abadde akola nga omu ku bannoonyereza ku misango yabadde naba poliisi 4 bakulembera okuli; Caroline Adio, Atugonza Muganyizi ne Moris Ayesiga abakyekukumye nebakwata omugole Christine Natuhwera ku Lwomukaaga nga ali ku mukolo.

“Takoze ekikolwa ekitaliimu nsa, bwebalumbye embaga nebakwata omugole ku fayiro y’omusango gw’okubba obukadde 8 eyali yaggalwa era nebamuggalira ku poliisi y’e Mbarara. Omugole bamuggye ku Kakiika Technical Institute weyabadde asembereza abagenyi be mu Mbarara,” Omwogezi wa Poliisi, Fred Enanga bweyannyonnyodde bannamawulire.

Okusinziira ku Enanga obuzibu bwavudde ku musango gwebaali bafunako nga Henry Mirembe avunaana Natuhwera okumukozesa loosi ya bukadde 8 bweyali amukolera nga owa Bbanka Agenti era nga ono ensonga yazitwala ppaka ku poliisi era naggulawo omusango gw’obubbi.

Oluvannyuma lwa poliisi okunoonyereza fayiro yasindikibwa ewakulira abawaabi ba gavumenti e Mbarara nabawa amagezi bakaanye wabula Mirembe natamatita era nasalawo okuwandiikira woofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti mu kitundu kino eyaddamu nayita fayiro eno.

Enanga agamba nti oluvannyuma lw’okuddamu okuyita fayiro, Mirembe nabapoliisi bano 4 abasalawo okuswaza Natuhwera ku mukolo gwe ogw’embaga era bwebatyo nebamukwata nga yakamala okukyuusa nadda mu kidaaala era wano Mirembe yaleeta emmotoka eyamwongerayo ppaka ku poliisi.

Afande Enanga yannyonnyodde nti ebikolwa bino byali bikyamu ebiswaza Omugole mu maaso g’abantu ababaddewo okuli abafamire ye awamu n’enganda za bba.

Ono yagasseeko nti wadde kiri mu mateeka abapoliisi okukwata omuntu yenna aliko omusango gwavunaanibwa naye balina okubaamu ak’obuntu kuba tewali muwaabi kyeyandifiiriddwa ng’omugole amulinze namukwata oluvannyuma lw’embaga.

Eby’okukwata omugole olwagudde mu matu g’ Adduumira poliisi mu kitundu kye Rwizi, Ezekiel Mitu nalagira omugole ayimbulwe mu bwangu era nabeetondera olw’ekyo ekyakoleddwa.

Mitu yalagidde abapoliisi bonna abenyigidde mu kikolwa kino okukwatibwa bavunaanibwe okweyisa obubi era singa gunaabasinga bakugobwa mu poliisi y’eggwanga.

Related posts

Eyaba omuBrazil atondose n’afiira mu kalwaliro.

OUR REPORTER

Mugumbule asabye abantu okujjumbira enteekateeka za Buganda.

OUR REPORTER

Olutalo  ku ani agenda okusikira Oulanyah ku kifo ky’e  Omoro
Lwaki  NUP , FDC ,ne  DP  bitidde okuvuganya . 

OUR REPORTER

Leave a Comment