11.3 C
Los Angeles
March 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Omusajja atiiddwa lwa kubba nkota ya ttooke.

Budala Kasujja atemeddwa ebijambiya ebimuttiddewo, nga kigambibwa nti asangiddwa mu lusuku lw’omutuuze ategerekeseeko erya Katongole ng’abba amatooke ge.

Bino bibadde ku kyalo Namusujja mu muluka gw’e Kiti mu ggombolola y’e Bukulula mu district y’e Kalungu.

Ssentebe w’ekyalo kino Mayiga Bbaale Emmanuel ategeezezza CBS nti nabo ng’abatuuze basanze mulambo, era police y’eLusango yebategeezezza nti ku kyalo kyabwe waliwo omuntu gwebasse.

Ssentebe Mayiga Bbaale Emmanuel agamba nti obubbi naddala obw’emmere bususse ku kyalo kino.

Related posts

Nobert Mao  yalondeddwa okubeera Minisita wa Ssemateeka n’Obwenkanya.

OUR REPORTER

Ebiri mu lipooti ku ndagaano ye mwanyi – Ababaka basazeewo endagaano y’e mwanyi esazibwemu

OUR REPORTER

Engeri elyato gye lyase abantu mukaga ku nyanja Nalubaale

OUR REPORTER

Leave a Comment