15.6 C
Los Angeles
March 21, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Omusajja eyabbye ebintu bya Police akwatiddwa.

Police e Mityana ekutte musajjamukulu Isa Simon, lwakubba bintu bya police omuli ne Batoon.

Omukwate mutuuze mu Kikuumambogo mu Ttamu division ekisangibwa mu Mityana minicipality.

Ayogerera Police mu bitundu bya Wamala Rachel Kawala, agambye nti police eriko ekizimbe mwebadde yakasenguka mu bitundu bye Wabigalo, era ng’ebadde ekyasomba bintu byayo okubizza mu kifo ekirala.

Wabula Musajjakulu ono yagirabirizza n’abbawo ebintu ebimu ebyabadde bikyasigalidde omuli eby’amasannyalaze n’ebirala.

Police bwekoze okunoonyereza ebimu babisanze mu maka ga Isa Simonnga kwotadde ne Batoon za police.

Related posts

Nambooze atabukidde abakozesa ambulensi z’abalwadde nebazivugiramu emirambo

OUR REPORTER

Omulangira Wasajja asabye abavubuka okwongera ku bitabo.

OUR REPORTER

Abanyaze mukamawabwe obukadde obusoba mu 23 basatu bakwatiddwa.

OUR REPORTER

Leave a Comment